
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butongozza empenduzo (App) ya Kabaka Education Fund okwanguyiza abayizi abaagala okusomera ku nsawo ya Kabaka Education Fund nga bayita ku omutimbagano awatali kutinddiga ngendo mpanvu.
Omukolo gw’okutongoza ‘App’ eno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era Minisita Israel Kazibwe Kitooke yagukoze kulwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga.
Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebaziza nnyo abakulu b’amasomero abawaayo bbaasale eri abayizi abasomesomesebwa ku nsawo ya Kabaka Education Fund nga kino kibayambyeko okuganyulwa mu nteekateeka eno okuvaamu abantu ab’omugaso mu nsi eno.

Kulwa Kamalabyonna, Owek. Kitooke asabye Gavumenti eyawakati obutabinika misolo mingi ku masomero gano kubanga gayambako nnyo okusomesa abayizi abatalina mwasirizi.
Ono akunze abayizi abalina okusomoozebwa okukozesa omukisa guno era bettanire enteekateeka z’Obwakabaka ezitali zimu.
Minisita w’ Ebyenjigiriza n’Embeera z’Abantu mu Bwakabaka, Oweek. Cotilda Nakate alaze obweralikirivu nti abaana bangi bawanduka mu masomero nga ebibalo biraga ebitundu 43 ku buli 100 ku baana abatandika mu lusoma olusooka ekiraga nti Obwakabaka bulina olugendo luwanvu.
Omukolo guno gwetabidwaako Abakiise mu Lukiiko lwa Buganda Olukulu, abawereeza mu Bwakabaka, banannyini masomero n’abantu abalala.