
Bya Shafic Miiro
Obwakabaka bwa Buganda butenderezza omulimu ogwakolwa omugenzi Abu Mayanja okulaba nti Buganda esigalawo mu Uganda eyawamu.
Obubaka buno buweereddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde yeetabye ku mukolo gw’okutongoza ekitabo ekyawandiikibwa ku bulamu bwe omuli ebimu ku byeyayogera awamu n’okukola.
Buganda era eyozaayozezza ab’enju y’Owek. Abu Mayanja wamu ne Prof. A.B.K. Kasozi olw’okuwandiika ebyafaayo by’Omugenzi nga basinziira ku byeyayogera nebyebakola mu bulamu bwe nebukakasa nti ono ajja kujjukirwa emirembe gyonna .
Bw’abadde ku mukolo guno, Owek. Kaawaase ategeezeza nti Mayanja ajjukirwa nnyo olw’okwagala ennyo eggwanga Buganda ate n’Ensi ye Uganda.
Owek. Kigongo ayongeddeko nti ono okwagala kwe teyakukomya mu bigambo wabula ku njuyi zombi era ajjukirwa nnyo mu biseera nga Uganda etondebwawo, yakozesa obukugu nga munnamateeka okulaba nti Buganda tevaawo wabula ng’esigalawo mu Uganda ey’awamu.
Ono akuutidde abafamire okulaba ng’omukululo gwa Mayanja oguli mu bwino atasangika bagunyweza era buli omu yeewale erinnya Mayanja okuba nti yaalitattana.

Kigongo agattako nti omugenzi ayigirwako bingi, era asabye abantu bonna okwettanira okusoma ekitabo kino ekyamuwandiikiddwako bafunemu eby’okuyiga.
Eyaliko Ssaabaminisita w’ eggwanga, Rt Hon. Amama Mbabazi, era nga yawangaala nnyo n’omugenzi yaatongozza ekitabo kino, era natenderezza nnyo emirimu gya mukwano gwe ono, gw’agamba nti yali musajja ateeyagaliza yekka, wabula yayagala nnyo Eggwanga lye era yaweereza mu bifo byonna eby’obukulembeze mu bwerufu.
Yeebazizza nnyo Famire olw’okunyweza omukululo gwa Mayanja era asabye abantu okusoma ekitabo ate n’okumuyigirako kubanga bingi ebirungi ebimwetoololerako.
Eyali mukyala w’omugenzi Abu Mayanja, Owek. Mariam Nasejje Mayanja ategeezeza nti musanyufu nnyo okulaba nti baggusizza omulimu gw’okuwandiika ekitabo kino, kubanga baagutandika ebbanga ddene nnyo emabega nga n’omugenzi akyaliwo wabula ne kitasobola kugguka.
Ono era yeebaziza nnyo Prof. Kasozi olw’okubakwatirako okuggusa omulimu guno. Minisita Nasejje agattako nti ntandikwa era baluubirira okulaba nti bawandiika n’ebitabo ebirala ebinaagoberezebwa ku kino.
Kyokka asabye bannabyafuzi okwekwata ekitabo kino kubanga Mayanja yasiiga ekifaananyi kyonna munnabyabufuzi bweyandikoze naddala ku nsonga y’enfuga egoberera amateeka.
Ekitabo kino kyawandikibwa Prof. Kasozi, ng’ono yeebaziza bonna abamukwatiddeko okulaba nti aggusa omulimu guno, era atenderezza nnyo Mayanja olw’amagezi n’ebikolwa by’agambye nti bikulu nnyo okusigira abantu bonna ekifaananyi eky’okwagala Ensi zabwe naddala abakulembeze okulaba nti bafaayo nnyo ku be bakulembera.
Prof. Kasozi ategeezezza nti ekyawandiikibwa mu Kitabo kino byanoonyerezeddwako bulungi okuva ku maloboozi ga Mayanja ne bye yawandiika ate n’okuva ku bantu abawangaala naye ne munsonda endala, era asabye abantu okukyekwata.
Ekitabo kitongozeddwa Ssaabaminisita eyawummula Amama Mbabazi ku mukolo ogubadde ku Mestil Hotel e Nsambya, nga gwetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyafuzi, bannamateeka, bannabyafaayo, abafamire, n’abantu bangi mu biti eby’enjawulo.









