
Bya Francis Ndugwa
Mukono – Kyaggwe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Omulangira era eyaliko Omulabirizi w’e Mukono, Micheal Solomon Ndawula Ssenyimba eyaseerera mu kiro ekyakesezza ku Lwokusatu era namusiima olw’ emirimu Obuganda wamu n’Ekika kye.
Okutendereza n’okusiima kuno kubadde mu bubaka bwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’okutereza Omulabirizi ono ku Lutikko y’Obulabirizi bwe Mukono ku Lwokutaano.
Beene ategeezezza nti Omugenzi abadde amanyi ebintu bingi ebikwata ku mpisa, ennono n’Obuwangwa era nga bamwebuuzaako bulungi. Omutanda atubuulidde nti ono ye yakulemberamu omulimu gw’okuddaabiriza amasiro g’e Wamala ekikakasa nti Obuwangwa bwe yali abusaamu ekitiibwa.
Ccuucu ayogedde ku mugenzi nga abadde yeenyumirizibwa olw’ebitone byabadde nabyo nga kuno kuliko obumanyi, obukozi, obuwulize, obwesimbu n’emizi.
Bwatyo naasaasira ab’omu nju ye olw’okuvibwako omuntu ono era naasaba Omukama Katonda yabeera abagumya.
Ku lulwe, Kamalabyonna Mayiga avumiridde abakulembeze abeeyita abayivu olwo nebeegaana obuwangwa n’ennono zabwe bwatyo naabasaba okulabira ku mugenzi.
Ye Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa annyonnyodde nti Omulangira Ssenyimba alaze abantu obukulu bw’obuyiiya n’obumalirivu kubanga buli kyabadde akwatako nga kitambula.

Owek. Nsibirwa ategeezezza nti Omugenzi amaze emyaka 28 nga ye ssentebe wa Kabaka Foundation era ekigiyambye okulaakulana n’okuweereza abantu ba Nnyinimu.
Eyakuliddemu okusaba ku mukolo guno era Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Kazimba Mugalu ategeezezza nti abakulembeze naddala mu Bulabirizi bwe Mukono beemalidde mu kubba ettaka ly’ ekkanisa naabasaba okweddamu. Bbo ab’enju y’omugenzi nga bakuliddwamu Nnamwandu Esther Nagginda Ssenyimba boogedde ku mugenzi nga abadde ayagala buli muntu era eyeenenya nga waliwo ebitatambudde bulungi.
Omukolo gwetabiddwako Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek.Christopher Bwanika ,Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe, Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Kaggwa Ndagala, bannabyabufuzi n’abantu abalala bangi.









