• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Obwakabaka butangaazizza ku bukadde ebisatu Museveni bweyawa Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
November 26, 2019
in Amawulire
0 0
0
Obwakabaka butangaazizza ku bukadde ebisatu Museveni bweyawa Katikkiro
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Museveni ng’akwasa Katikkiro kyeke ey’obukadde ebisatu

Musasi Waffe

Obwakabaka Bwa Buganda nga buyitira mu minisita avunaanyizibwa ku Lukiiko, Abagenyi n’Amawulire, Owek. Noah Kiyimba butangaazizza ku bukadde ebisatu, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bweyakwasa Katikkiro wiiki ewedde. Mukiwandiiko ekifulumiziddwa Owek Kiyimba, kitegeezezza, anti okwawukana kubibadde bibungeesebwa ku mitimbagano egy’enjawulo, essente zino zaaweebwayo mu kaweefube w’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi agayokebwa mu 2013.

“Gavumenti ya Uganda ng’egoberera ekiteeso kya kabineeti nayo yawaayo obuwumbi bubiri n’esuubiza nti singa Obwakabaka bunaagiwa embalirira ya ssente zino, baali baakubwongera ssente endala. Kyaddala, enkozesa y’obuwumbi obubiri yabaweebwa era olw’okugisiima, gavumenti yakiriza okwongera Obwakabaka obuwumbi obulala bubiri, ng’akubuno Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku Mmande nga 18/11/2019 yatuwaddeko obukadde bisatu,” ekiwandiiko bwekyategeezezza.

Ekiwandiiko Mubujjuvu

Mu March 2016, nabbambula w’omuliro yakwata era nasaanyaawo amasiro g’e Kasubi nga gano mwemuterekeddwa ba Ssekabaka ba Buganda bana omuli Muteesa I, Daniel Mwanga, Daudi Chwa ne Edward Muteesa II. Amasiro gano gaalondebwa ekitongole ky’amawanga amagatte ekya Unesco  ng’ekimu kubifo ebyenkizo ennyo munsi yonna. Obwakabaka Bwa Buganda bwabakana n’eddimu ly’okugazzaawo okuva mu 2013 oluvanyuma lw’okulondebwa kwa Charles Peter Mayiga kubwa Katikkiro.

 Nga buyita munteekateeka ez’enjawulo nga Ettoffaali, Obwakabaka bwakasaasaanya Shs 6, 064,347,329 kuzaawo amasiro gano. Ku buwumbi obuna Obwakabaka bwebwakakunganya, Shs2, 594,879,605 zaakozesebwa mukuzimba bbugwe okwetooloola amasiro gano agawaza yiika 64 okusobola okutangira ababbi n’abasenze okusaalimbira kuttaka lino. Era essente zino zaakozesebwa n’okuddaabiriza Bulinnya, ennyumba entongole Naalinnya w’amasiro mwasula saako n’amayumba amalala abalabirira amasiro mwebasula. Sente zino era zeeyambisibwa mukussa amasanyalaze g’enjuba okwetoolola ekikomera kyonna saako n’amazzi. Gavumenti ya Uganda ng’egoberera ekiteeso kya kabineeti nayo yawaayo obuwumbi bubiri n’esuubiza nti singa Obwakabaka bunaagiwa embalirira ya ssente zino, baali baakubwongera ssente endala. Kyaddala, enkozesa y’obuwumbi obubiri yabaweebwa era olw’okugisiima, gavumenti yakiriza okwongera Obwakabaka obuwumbi obulala bubiri, ng’akubuno Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku Mmande nga 18/11/2019 yatuwaddeko 300,000,000 [obukadde bisatu.]

Omulimu gw’okuzimba Muzibwazaalampanga ng’eno y’ennyumba enkulu kyenkana guwedde. Nga n’akasolya akasinga obuzibu ebitundu kyenda kubuli kikumi kawedde okussibwamu Ddaali [ceiling]. Langi yasiigibwa ku byuma ebiwaniridde akasolya olw’okubitangira okutalagga at era langi eno eyaggyibwa mu Bugirimaani teggya muliro.

Gavumenti ya Japan ng’eyita mukitongole kya UNESCO, yasuubiza emitwalo gya doola 500,000 nga zakugula ebyuma ebizikiriza omulro era bino byakuteekebwa mumasiro ng’omulimu gusemberedde okuggwa.

 Obwakabaka bukola kyonna ekisoboka okulaba ng’amasiro gamalirizibwa kyokka nga buli muzizo saako  obulombolombo bwonna mumulimu guno bugobereddwa.

Twebaza buli muntu yenna alina kyeyawaayo omuli essente, ebizimbisibwa saako n’abo abawaddeyo amaanyi gaabwe okulaba ng’amasiro gazimbibwa. Twagala okukakasa abantu ba Buganda nti buli ekirina okukolebwa kiggya kkolebwa okulaba ng’amasiro g’e Kasubi gaddizibwawo kumutindo gwegaaliko kubanga eno y’entabiro y’obuwangwa bwaffe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.