
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busse omukago ne Stanbic Bank okutumbula ebyobulimi nga mu nteekateeka eno bazimba Ssemaduuka ku buli ssazza enatundanga ebikozesebwa mu nnimiro kwosa n’okuwa abalimi looni ku magoba amatono ddala.
Endagaano eno eteereddwako omukono, Omukungu Alfred Bakyusa kulwa Buganda ate Mw. Paul Muganwa nateekako kulwa Stanbic Bank ng’ Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo abaddewo ng’ omujulizi.
Bw’ abadde ajulira, Owek. Kaawaase ategeezezza nti Ssaabasajja ali ku kawefube w’okulwanyisa obwavu mu Nsi ye Buganda nga ayita mu nkola ezenjawulo okisingira ddala mu bulimi n’obulunzi.

Kigongo annyonnyodde nti omukago guno gugendereddwamu okulaba nga abantu ba Ssaabasajja bafuna ebikozesebwa bye byobulimi ebiri ku mutindo, ku bbeeyi ennungi ate nga ssi bicupuli.
Yeebazizza Stanbic Bank okwegatta ku Beene okulaba nga omulamwa ogwo gugenda mu maaso nga ewoola abalimi mu Buganda ku misingo emitonotono wamu namagoba amatono ddala ate nga baweebwa ekiseera ekituufu mwerina okubanjiza nga tetadde balimi ku bunkenke.
Oweek Kawaase asabye abalimi okuba abesigwa n’ensimbi ezibesigisiddwa nga bazikolamu byebateekeddwa okukola kibayambe okuzikomyawo mu budde obutuufu.
Minisita w’ebyobulimi, obulunzi wamu n’obweggasi, Owek Hajji Hamis Kakomo ateegezezza nti omukago guno gugenderedwamu ensonga ssatu okuli okuzimba zi Ssemaduuka ez’omulembe ezinatuunda ebikozesebwa mu eby’obulimi eby’omulembe ku bbeeyi ensamusaamu nga bwebatumbula obweggasi.
Ye omukulu wa Stanbic bank, Paul Muganwa annyonnyodde nti bbanka yabwe egenderera okusumulula amaanyi naddala ag’ abakyala mu by’obulimi nga bayita mu bibiina byabwe eby’obwegasi nga okutuuka leero bakayamba bannayuganda abawera obukadde busatu okukola emirimu gyabwe.
Mw. Muganwa agamba bakukwatagana ne BUCADEF okutumbula embeera zabantu okuyita mu bulimi okusingira ddala mu kirime kye mmwanyi, okugulawo zi Ssemadduka ze bikozesebwa ebyenjawulo wamu n’okuwola abalimi ensimbi bakulaba nti omukisa guno gutuuka ku buli muntu.
Ssentebe wa bboodi ya BUCADEF, Dr Ben Muyinza ategeezezza nti BUCADEF ekola emikago n’ Ebitongole ebyenjawulo okulabanga abalimi bafuna ebikozesebwa naddala ebigimusa ebiri ku mutindo nga bamalawo ebicupuli kuba bya bulabe nnyo ku mmere eriibwa abantu ne bisolo.
Ono asuubiza Stanbic bank okukolera mu bwerufu kuba yemu ku mpagi Buganda kwetambuliza emirimu gyaayo.

Abamu ku basuubirwa okuganyulwa eno, Andrew Kwesiga okuva mu Kiteenga Agali Awamu coffee Growers Cooperative e Buweekula alaze essuubi mu mukago ogukoledwa nga asuubira ebikozesebwa eby’omutindo okusingira ddala ebigimusa ebinava Embuga.
Amassaza okuli Mawokota, Buwekula, Buddu ne Ssingo mwenasooka okuzimbibwa zi Ssemadduka zino.
Enteekateeka eno gwetabiddwako; Minisita Israel Kazibwe Kitooke, ssenkulu wa BUCADEF Omuk Alfred Bakyusa zi Cooperative ezenjawulo okubadde Kabuwambo Growers Cooperative, Kibuye Coffee Growers, Pokiino Multipurpose Cooperative n’ abantu abenjawulo.