Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka nga buyita mu ttendekero lya Buganda Royal Institute and Technical Education ne BICUL busse omukago naba NTF consult mwebagenda okubangulira abavubuka naddala abawala okukanika boodabooda nebikwata ku mulimu guno.
Bw’abadde atongoza omukago guno, omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek Patrick Luwaga Mugumbule ayongedde okukaatiriza obukulu bw’emirimu gy’ emikono okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka.
Mu nteekateeka abavubuka abawala bagenda kubangulwa bayige okukanika booda booda, okuziddaabiriza, okuzikugukamu era bafunirwe emirimu.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek.Patrick Luwaga Mugumbule ategeezeza nti bakirabye nti obukugu nobumannyirivu mu by’emikono gwe musingi gw’enkulaakulana nga omukago guno mukulu ddala.
Sipiika Mugumbule akubiriza abennyigidde mu mukago guno okufuba okugutuukiriza ekiruubirwa kyagwo kisobole okugguka obulungi.
Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Dr.Prosperous Nankindu Kavuma annyonnyodde nti nga bayita mu mukago bakulongoosa erinnya lya booda booda era bakyuse omulimu guno gufune ekitiibwa.
Amyuka ssenkulu wa Buganda Royal, Jjemba William agamba nti baakulwana bwezizingirire okugussa omukago guno guveemu ebibala ebigusuubirwamu.
Akiikiridde NTF Consult, Ntege Badru annyonyodde nti ekimu ku biruubirirwa by’omukago guno kwekumalawo ebbula lyemirimu mu bavubuka n’okubannyikizaamu obukozi.
Enteekateeka eno etandikidde ku ttendekero lya Buganda Royal kyokka yakubunnyisibwa ne mu matendekero amalala.