Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busse omukago ne Ernest Cook University () okujjanjaba abantu ba Buganda endwadde ku nsimbi entonotono kibayambeko okufuna eby’obulamu ebirungi basobole okulaakulana.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga Minisita w’Ebyobulamu mu bwakabaka, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko yataddeko omukono, ate kulwa ECUREI, Prof. George Kirya nateekako nga Katikkiro Charles Peter Mayiga abaddewo ng’omujulizi.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno Kamalabyonna Mayiga ategeezezza nti lino ekkubo ttuufu nnyo kubanga Beene ayagala abantu be nga balamu bulungi olwo Buganda edde ku ntikko.
“Ndi musanyufu okubeerawo ng’omujulizi nga tutongoza endagaano y’okutegeeragana wakati w’Obwakabaka ne Ernest Cook University. Tubadde tukolagana nabo okumala ebbanga ddene naye nga tetutongozanga nkolagana eyo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agasseeko nti oluvannyuma lw’okutongoza enkolagana eno kati buli ludda lutegedde ekyo ekirusuubirwamu kubanga obuweereza obukwata ku by’obulamu byebimu ku bintu ebisinga obukulu naddala eri abakulembeze mu Bwakabaka ne Gavumenti eyawakati.
Ono annyonnyodde nga bwebazze bakunga abantu okulya obulungi kubanga wadde bangi bakubirizibwa okukola nebabaako kebayingiza naye ate nebeerabira okulya obulungi kuba abasinga mu kino balowooleza mukulya nnyama nabisiike. Naye kati bongera okubakubiriza okusula obulungi era bakole ne dduyiro.
Kamalabyonna Mayiga alaze okusomoozebwa kw’ abantu abagenda mu myoleso nebatandika okutegeeza abantu ku miti egiwonya endwadde eziwerera ddala naabasaba okwegendereza ensonga z’ebyobulamu era batuukirire abakugu okufuna ekituufu.
Alabudde abantu abanoonya obujjanjabi mu batalina bukugu okumanya nti layisi agula buwanana bwatyo neyeebaza aba ECUREI olw’okuvaayo bajjanjabe abantu ku nsimbi entonotono. Ono abeebazizza olwa sikaala zebawaddeyo okubangula abaana ba Buganda bafune obukugu okukebera endwadde ezisinga okutawaanya bannayuganda kubanga kuno kuwola bbanja.
Minisita w’Ebyobulamu n’Embeera z’ Abantu mu Bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko ategeezezza nti endagaano eno nkulu nnyo kubanga ejja kusobola okusitula embeera z’abantu ba Kabaka nga babajjanjaba n’okubalambika mu by’obulamu.
Owek. Nakate agamba nti basuubira enkolagana ennungi mu mukago guno era talina kubuusabuusa nti enjuyi zombi wamu n’abantu ba Nnyinimu bakufunamu nga bafuna obujjanjabi obw’omutindo era obusoboka.
Amyuka Ssenkulu wa ECUREI (Ernest Cook University), Micheal Grace Kawooya ategeezezza nti balina bakukolagana bulungi n’obwakabaka mu by’obulamu n’ebyenjigiriza era bakutambulira wamu okulaba nti abantu ba Beene balamu.
Mw. Kawooya agamba nti bakukozesa Tekinologiya n’obukugu bwabwe okutuukiriza ebigendererwa by’omukago guno nga bakebera abantu ba Beene nga batandikira ku Kkansa era wano bakukebera abantu abawera lukumi buli mwaka, bagabe Sikaala eri abakozi mu malwaliro g’Obwakabaka okugatta ku bukugu bwebalina.
Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka wamu nemu Ttendekero lya ECUREI.