Bya Francis Ndugwa
Bulange- Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyitira mu kitongole kya Buganda Land Land Board, busse omukago ne Centenary Bbanka awamu ne Henan Guoji Group, okuzimbira abantu ba Kabaka ennyumba ku bbeeyi eya wansi.

Bw’abadde atongoza omukago guno mu Bulange -Mmengo ku Lwokusatu, Kamalabyonna Mayiga agambye nti ekimu ku bintu ebitawaanya ennyo abavubuka, kwe kuzimba kuba kwa bbeeyi.
“Okuzimba enju kintu kirungi naye kimalako nnyo abavubuka ssente. Ekisookera ddala omuvubuka asooka n’anoonya ssente okugula ettaka, ettaka eriri mu bifo ebirungi lya bbeeyi ate nga n’ebizimbisibwa nabyo bya buseere.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti wakati ng’abavubuka bakuutirwa okumala emisomo, okufuna omulimu n’okuwasa ekiddako libeera bbanja lya kuzimba nnyumba wakati mu byetaago ebingi by’abeera nabyo.
“fFe ng’Obwakabaka, tulowooza nti omuntu bw’aba yeekutte bbanka nga Centenary, asobola okuwewulwako ku buzibu buno.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde. Okusinziira ku Katikkiro mu mukago guno, bbanka ewa Gouji ssente z’ennyumba omuntu gy’aba asiimye ate Buganda Land Board n’ewa aba bbanka ekyapa, olwo omuntu n’ayingira ennyumba.
Owek. Mayiga agambye nti bbanka ky’ekola kwe kuwa omuntu ebbanga eggwanvu okusobola okuzzaayo ssente z’ebeera ewadde kkampuni ya Gouji olwo obulamu ne butambula nga tali ku muliro.
Omu. Simon Kaboggoza, ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu be basule bulungi era bawangaalire mu bulamu obweyagaza.
Ku lwa Buganda Land Board, Omuk. Kaboggoza y’ataddeko omukono ku lwa Buganda Land Board, Beatrice Lugalambi ku lwa Centenary, ate Shen Windy ku lwa Henan Guoji group.
Mu nteekateeka eno, ennyumba zino zitandikira ku bukadde 58 ku nnyumba ey’ekisinge ekimu okutuuka ku nju y’Obukadde 130 era zonna ziri mu kifo ekiteekeddwateekeddwa obulungi.








