
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busse omukago ne kkampuni ya Grain Pulse Ltd okutumbula ekirime ky’emmwaanyi nga buyamba abalimi okugattako omutindo wamu neku bungi bw’amakungula gebafuna.
Omukolo guno guyindidde mu Bimuli bya Bulange ku Lwokuna. Omukungu Roland Ssebuufu yataddeko omukono kulwa Buganda ate Fredrick Petrus Van Oudtshoorn nateekako kulwa Green Pulse era ng’Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yajulidde kulwa Kamalabyonna.
Mu bubaka bwe, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, agumizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka nti ekigimusa kino kyekenneenyezebbwa bulungi ate kiri ku mutindo nga kiyise mu misoso gyonna naabasaba okukikozesa.
Agasseeko nti kampuni y’Abagirimaani eya Grain Pulse efulumya ekigimusa kino yeesigika mu kufulumya ebintu eby’omutindo era n’ekigimusa ky’Emmwaanyi kitabuddwa ku musingi gwa mmwanyi Terimba era Abalimi basaanye okukyeyunira baganyulwe mu mukago guno ogusakiddwa BUCADEF.
Kamalabyonna ategeezezza nti mu Nnamutayiika w’Obwakabaka mulimu kaweefube w’okutumbula obulimi bw’emmwaanyi newankubadde nga waliwo okusomoozebwa kw’okukaddiwa kw’ettaka nga omulimi kyabeera asigaddwa okukola kwekuliisa ettaka nga aliwa ebigimusa.

Minisita w’Obulimi Obulunzi obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo akinogaanyizza nti abantu bakungiddwa okulima emmwanyi era omulanga guno bagujjumbidde nnyo naye eby’embi ge makungula amatono ddala, wabula oluvannyuma lw’okuleeta ekigimusa kino abalimi naddala ab’emmwanyi amakungula bafuna ga muyiika.
Ssenkulu wa BUCADEF omukungu Alfred Bakyusa agumizza abalimi nti bakufuna mu kirime ky’Emmwanyi singa bakozesa ekigimusa kino era n’enkolagana yabwe ne Grain Pulse Limited ekyagendera ddala bulungi awatali buzibu bwonna.
kulwa Grain Pulse Limited, Fredrick Petrus Van Oudtshoorn ategeezezza nti kampuni eno nkozi ya bigimusa wamu n’eddagala ly’ebirime n’ebisolo nga bafa nnyo ku magoba omulimi gaafuna.

Petrus Van Oudtshoorn agamba nti baagala nnyo abalimi bafune amagoba agawerako mu birime kuba Africa erina ettaka eggimu. Bbo nga kampuni bakkiriza nti Uganda esobola okwenkana Tanzania mu kufulumya kasooli kuba bombi ettaka lyabwe jjimu bulungi singa bamanya enkoseza ye bigimusa entuufu era mu bipimo ebituufu.
Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ba Kabaka okuli Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Ssaalongo Robert Sserwanga, abalimisa b’Obwakabaka ku masaza, n’abalala.