
Bya Gerald Mulindwa
Bulenga – Busiru
Obwakabaka busomesezza ab’e Bulenga ku nteekateeka y’okugema omusujja gw’ensiri okusobola okugwetangira.
Kino kiddiridde okutongoza kaweefube w’ okugema omusujja guno nga 2 Kafuumuulampawu mu kuggulawo e ddwaliro ly’ Obwakabaka erya Muteesa II e Mityana Ssingo.
Obwakabaka bugamba nti bwakabaka bubakanye ne kaweefube ow’okukubiriza abantu okujjumbira okugemesa abaana baabwe abali wakati w’emyezi 6-12 n’emyaka 2.
Omukwanaganya weby’obulamu mu bwakabaka, Mw. Muwonge David bw’abadde asomesa abatuuze bano abakungaanidde ku kelezia ya Our Lady of Fatima, abasabye baleme kugendera ku bigambo ebinafuya enteekateeka eno nti eddagala ly’okugema lya bulabe.

Muwonge akakasizza nti kino ssi kituufu kubanga abakugu mu by’obulamu mu Nsi yonna baasooka ku lyekenneenya era ne baligeseza nebakikakasa nti ssi lya bulabe eri omwana.
Wano w’abasabidde bajjumbire kaweefube ono bagemese abaana baabwe babatangire okukwatibwa omusujja gw’ensiri (malaria).
Nnalongo Solome Kaliika, ssentebe w’ekyalo Nakuwadde Bulenga, akubirizza abantu b’akulembera okuwulira ekiragiro kya Kabaka eky’okwetangira endwadde zzi namutta ate n’ezo ezisobola okwewalika bazeewale.