
Bya Ssemakula John
Kakeeka – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Ssettendekero wa Muteesa I Royal University bwongedde okusiima Hajati Bityaminsi Namuddu ow’emyaka 98 eyawa ettendekero lino ekirabo ky’Omuzikiti kiyambe abayizi okwongera okumanya Katonda.
Cansala w’ettendekero lino, Omulamuzi Julia Ssebutinde ategeezezza nti kino kyekimu ku bintu ebibadde bikyalemesezza settendekero ono okuweebwa ‘Charter’ era kati balina essuubi nti olugendo luno lugenda kwanguwa.
Ye Hajati Namuddu agambye nti kino yakikoze okusobola okwebaza Allah eyasobozesa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okudda mu nsi ye nasobola okulembera abantu be.

Okulaga okusiima kwa Buganda, omukyala Namuddu yaweereddwa ebbaluwa emusiima awamu n’ejjinja ery’omuwendo era Katikkiro Mayiga bweyali amukwasa ejjinja lino e Kirumba Masaka yasaba abantu bonna okumulabirako.
Bw’abadde ayogera ku kkula eryamuweebwa Hajati Bityaminsi Namuddu agambye nti kino yakikola olwa kakwate kaalina ku Buganda kuba yalina enkolagana ne Ssekabaka Muteesa II ng’eno egendedde ddala neku mulembe Omutebi.
Hajati Namuddu, muwala wa Hajji Yakubu Wakulira ne Hajjat Jalia Nazziwa abaaberanga ku kyalo Kisaana mu Kalungu era nga ku bano kweyajja omutima omugabi naddala okuwaayo eri obusiraamu era ekyobugabi akisize nemu baanabe.

Namuddu atubulidde nti yali musubuuzi mu butale era olwokukola ennyo yasobola okugula n’okuzimba wabeera bwatyo nakubiriza abantu okubeera abakozi n’okukolagana obulungi n’abantu.









