
Bya Ssemakula John
Kiboga – Ssingo
Obwakabaka busanyukidde ekiragiro kya kkooti enkulu e Kiboga mweyimiriiza mbagirawo bannakigwanyizi ababadde beesomye okutwala ettaka ly’Obwakabaka kwebwazimba eddwaliro omuzalira abakyala e Kiboga mu ssaza lye Ssingo.
Kkooti okuyisa ekiragiro kino kidiridde Obwakabaka okugenda mu kkooti okwekubira enduulu mu eri bannakigwanyizi abali beesomye okutwala ettaka lino nebatuuka n’okusitulako bizimbe kwosa okutemateemamu poloti nebatandika okwagala okuzitunda.
Minisita wa kabineeti n’emirimu egyenjawulo mu woofisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba ategeezezza nti kkooti okutuuka okuyisa ekiragiro kino kidiridde okukizuula nti wabaddewo okupapirira eri ababadde baagala okukulakulanya ettaka lino .
Owek.Kiyimba agamba nti omuwawabirwa David Nsubuga nebakolagana nabo mungeri ey’olukwesikweesi nebakola ebyapa mu ttaka ly’Obwakabaka olwo nebatundako Poloti n’okuzimbako ebizimbe.

Kiyimba agattako nti ettaka lino lyerimu kwebyo ebyakomezebwawo gvumenti eya wakati eri Obwakabaka mundagaano gyebakola mu mwaka 2013.
Minisita Kiyimba asinzidde wano naalabula abantu bonna obutetantala kugula ttaka lyebatasoose kufunako kumanyisibwa kutuufu ku ttaka lyonna okwewala okuferebwa banakigwanyizi abenjawulo.
Ettaka elyogerwako liweezako yiika nnya era liri ku ‘Block’ 655 Poloti 218 nga lisangibwa mu Ttawuni kkanso y’ekibuga mu ssaza lya Beene elya Ssingo era ng’Obwakabaka ettaka lino bwalifuna mu mwaka gwa 1920.
Bino webijjidde ng’ Obwakabaka buzimba ebizimbe ku ttaka lino omuli eddwaliro ewazaalira abakyala n’ ebizimbe ebirala ebikozesebwa kati Ttawuni Kkanso y’e Kiboga ne disitulikiti .









