
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka busaasidde nnyo abantu abafiiriddwa abantu baabwe mu kubwatuka kwa bbomu ebbiri ezaategeddwa mu kibuga Kampala ku Lwokubiri n’emirundi emirala egiyise.
Obwakabaka bufulumizzaawo ekiwandiiko eky’enjawulo ekiteereddwako omukono, Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku mawulire era omwogezi wa Buganda, Owek. Noah Kiyimba okulaga okunyolwa.
“Tuvumirira ebikolwa ebigenderera okusaanyaawo obulamu bw’abantu abatalina musango mu bugenderevu.” Bw’atyo Minisita Kiyimba bw’agambye.
Minisita Kiyimba asinzidde wano n’asaba ebitongole eby’ebyokwerinda okukola kyonna ekisoboka okutangira ebikolwa bino era banoonyereze abali emabega w’ebikolwa bino, bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka.
Bino we bijjidde nga poliisi yaakamala okukakasa ng’abantu abawera 6 bwe bafiiridde mu butujju bwa bbomu obukoleddwa mu kibuga Kampala okuliraana poliisi ya CPS awamu n’oluguudo lwa Parliamentary Avenue.










