• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyenjigiriza

Obwakabaka bulungamizza ku nteekateeka y’ensoma empya

Gambuuze by Gambuuze
March 3, 2020
in Ebyenjigiriza
0 0
0
Katikkiro n’omukyala nabo bawandiise ennyiriri mu Bayibuli
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro Charles Peter Mayiga

Musasi waffe

Obwakabaka bwa Buganda olwaleero buvuddeyo okutangaaza ku nteekateeka y’ensoma empya giyite Curriculum minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo gyeyatandise okussa mu nkola mu masomero ga sekendule okutandikira mu siniya esooka.

 Ng’ayogerako ne bannamawulire ku Bulange e Mmengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti nga minisitule tennaba kubunyisa nteekateeka eno, balina okusooka okwetegereza ensomesa y’amasomo; ery’eby’obulimi, ebyafaayo, ennimi ennansi n’ebyatekinologiya.

Oweek. Mayiga agambye nti Bannayuganda ebitundu 70 ku buli kikumi bawangaalira mu byalo era nga byabulimi bye bibayimirizzaawo.  

“Eby’enfuna bya Uganda okutambula mu ngeri eya namaddala eri ku bya bulimi. Bwoba oyagala enkulaakulana eyanamaddala, osookera kw’ebyo ebikwetoolodde. Mumbeera gyetulimu, tetusobola kuvuganya mu bya tekinologiya n’amawanga agaakula naye bw’otandikira ku bulimi ne sayansi, ne tekinologiya, omutuukako ng’omusingi guli mu ebyo byosobola,” Mayiga bwagambye.

Okusinziira ku nteekateeka empya, essomo ly’ebyobulimi sirya buwaze eri abayizi.

Kubyafaayo, Mayiga agambye nti eggwanga lyonna okutebenkera lirina okutegeera ebyafaayo byalyo abayizi babitegeere mu bwesimbu bwabyo ebitali byafaayo byakujingiria.

“Abayizi bamanye nti tusaana okwekuumira ebirungi byetuyiseemu ate okwewala ebibi byetuyiseemu,” Mayiga bwagambye.

Ku nnimi Mayiga agambye nti Obwakabaka tebuwakanya bantu kumanya oba kusoma nnimi ngwira naye kyetaagisa gavumenti okusoosowaza ennimi ennansi.

“Ffe tulowooza okumanya ennimi kya buggaga naye okumanya ennimi ennansi kya bugunjufu. Toyinza kumanya kwogera Luchina nga tomanyi kw’ogera Luganda ne weebala nti oli mubangufu.”

Agasseeko nti talaba nsonga lwaki abaana balina okusoma Oluchina, Nti olw’okuba  China ekulira ku misinde mingi si nsonga yassimba lwaki Oluchina lulina okusomesebwa.  

“Omuntu yenna ayagala okuyiga ennimi endala bwayiga olulimirwe olunnansi kimwanguyira okuyiga ennimi endala. Okugamba nti omwana waddembe okusoma Oluganda oba obutalusoma tugamba nti sikituufu era kitunafuya nga eggwanga,” Mayiga bwagambye.

Ate ku ssomo ly’ebyuma bikalimagezi, Mayiga agambye nti tekirina kuba kya kyeyagalire kubanga mu mulembe gwa sayansi atamanyi kompyuta wakusigalira emabega.

Ffe tulowooza nti buli mwana yandisomye ebya kompyuta. Bwetusigalira tujja kufuna ebizibu mu kudduka emisinde okusanga abaatusookayo mu by’enkulaakulana.

Ng’entereeza empya tennaba kuteekebwa mu nkola, gavumenti tugisaba ensonga zino ezirowoozeeko,” Mayiga bwagambye.

 Agambye nti ategese ekiwandiiko kyagenda okutwalira minisita akola ku by’enjigiriza Janet Museveni okulaba nga ensonga zino baziyingiza mu nteekateeka empya.  

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.