
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’olukiiko lw’ Abataka mu Bwakabaka, Omutaka Augustine Kizito Mutumba alambise ku nteekateeka ezigenda okugobererwa okutereka Omutaka w’Ekika ky’Endiga, Jjajja Lwomwa Daniel Bbosa eyattiddwa ku ntandikwa ya wiiki eno oluvannyuma lw’okukubwa amasasi.
Okulambika kuno Omutaka Nnamwama akukoledde mu lukung’aana lwa bannamawulire mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nalaga ebigenda okuyitibwamu okufuna Lwomwa omuggya.
Nnamwama Mutumba annyonnyodde nti singa Ekika kyonna kiviibwako omukulu w’ Akasolya, Katikkiro w’Ekika ekyo avunaanyizibwa okutegeeza mu butongole Omukubiriza w’Olukiiko lw’ Abataka, Katikkiro wa Buganda ne Ssaabasajja Kabaka era omukolo gw’okutereka Omutaka omubuze n’okutuuza omuggya byonna bikolebwa omulundi gumu.
“Enkiiko ezenjawulo zigenda kutuula okumala ekiseera ekitali kigere okuteekateeka emikolo gw’okutereka omubiri gw’Omutaka omubuze Lwomwa saako nokulonda agenda okudda mubigere by’omugenzi, okuziika omugenzi nokumusikiza omukulu w’Ekika omuggya byakukolebwa wamu” Omutaka Augustine Kizito Mutumba.
Omutaka Mutumba era ategeezezza nti ebizibu ebyenjawulo ebizze birumba Buganda byekuusa ku nkyukakyuka mu mbeera z’obulamu bw’abantu, kyokka Buganda yakwettanira emirembe okuvunnuka ebisomooza bino.
Ono era annyonnyodde nti tewanaba bwetaavu kufunira Bataka ba Buganda obukuumi obw’enjawulo nga emikutu egimu bwegibadde gitandise okutegeeza.
Ono era akubirizza abantu okwettanira okutabagana singa wabaawo okusowagana okwengeri yonna okwewala ebikolwa eby’ettemu ebizze byeyongera mu ggwanga.
Kitegeerekese nti ab’Ekika ky’ Endiga bebagenda okukulemberamu enteekateeka zonna ez’okuziika nga bayambibwako Obwakabaka.