Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bufulumizza ekiwandiiko okulabula Omw. Gideon Tugume ng’ono aliko ebigambo ebya kalebule by’agenda ayogerera ku mikutu gy’ebyempulizanya egy’enjawulo.
Ekiwandiiko kino, kifulumiziddwa Minisita Noah Kiyimba akola nga Minisita w’Amawulire mu kiseera kino era kiteereddwako omukono Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika.
Tugume ono mu butambi obw’enjawulo alumiriza nti Gavumenti ya Kabaka ekulemberwa Katikkiro yaggya obuwumbi 47 mu nkuluze okugula endokwa z’emmwanyi kyokka mbu ensimbi ne zikozesebwa birala olwo ate Katikkiro nafuna endokwa ezibalirirwamu obuwumbi 47 okuva mu UCDA.
Ono era gamba nti Katikkiro yasabye ennyongereza mu mbalirira ya 2024/2025, ayongerako nti Katikkiro yayita aba Buganda caucus n’abagulirira okuwakanya eky’okuggyawo UCDA.
Okusinziira ku kiwandiiko kinnyonnyola nti UCDA tewangako Katikkiro na Bwakabaka ndokwa zibalirirwamu buwumbi 47, era tewali mbalirira ya buwumbi 47 nga za ndokwa za mmwanyi ya ekoleddwa oba ebaddewo mu Bwakabaka wadde mu Nkuluze. Kigenda mu maaso ne kiraga nti tewali kiwandiiko kyonna Katikkiro kye yali ataddeko omukono nti afunye ensimbi okuva mu UCDA, era UCDA yawa Obwakabaka endokwa okuva mu 2016 okutuuka mu 2019, okuva olwo tewali ndokwa zonna zaali zizzeemu kuweebwa Bwakabaka nga ziva mu UCDA.
Okusinziira ku bino byonna, Tugume asabiddwa okuleeta obujulizi obulumiruza by’ayogerako bwe kiba ssi ekyo avveeyo aggyeyo obutambi bwa kalebule gw’azze ayogera ku Katikkiro n’Obwakabaka obuli ku mitimbagano ne yonna gye busaasanidde, okwetonda mu buwandiike eri Katikkiro n’Obwakabaka era asangulewo ebyo byonna byazze ayogera ku Bwakabaka nga bya kalebule. Bino asabiddwa okubikola obutassuka nnaku 7 ng’afunye ekiwandiiko kino.