
Bya Francis Ndugwa
Ndeeba – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya National Environment Authority (NEMA) awamu n’abakulembeze abalala abakwatibwako okusobola okulwanirira ennyanja eno ereme okusaanawo.
Bw’abadde akulembeddemu abakulembeze ab’enjawulo abakwatibwako ensonga z’ennyanja eno, Minisita avunaanyizibwa ku bulambuzi, ennono, obuwangwa, embiri n’ebyokwerinda, Owek. Kyewalabye Male ategeezezza nti bakukola kyonna okulaba nti ennyanja eno esigaza ekitiibwa kyaayo.

“Ekituleese wano ne bannaffe bano okuli NEMA, RCC n’obukulembeze obulala, kwe kulaba kiki kye tusobola okukolera eky’obutonde kye tulina wano. Ennyanja ya Kabaka abasinga bagimanyi nti y’ennyanja esinga obunene mu nsi yonna eyasimibwa n’engalo. Noolwekyo tetuyinza kufiirwa kintu bwekityo ekiri ku mutendera gw’ensi yonna.” Owek. Kyewalabye bw’annyonnyodde.
Owek. agamba nti baagadde okulaba bwe bayinza okukwatagana n’ebitongole bino okusobola okutambula obulungi era ennyanja egase abantu abeetoolodde ekifo kino naddala abo abaasengawo mu mateeka.
Ono ayongedde okulabula abo abeesenza ku nnyanja eno mu bukyamu okugoberera amateeka era n’abo abaliwo mu bukyamu okwetereeza kuba tebasobola kukkiriza nnyanja eno kusaanawo nga balaba.

Ssenkulu wa NEMA Dr. Barirega Akankwasa, ategeezezza nti nga bali wamu n’Obwakabaka baakulwana okulaba nga ennyanja ekoma okukosebwa n’okutyoboolebwa kubanga kizing’amya enkulaakulana y’ekitundu kino kw’ossa n’okufiiriza ekitongole ky’ebyobulambuzi.
Amyuka Omubaka wa pulezidenti e Lubaga, Anderson Burora annyonnyodde nti ennyanja eno egwana ekitiibwa kyayo era baakulwana okulaba nga abatategeera bukulu bwayo babangulwa bakomye okujirinnyirira kw’ossa n’okukomya abo abakolerako obuzzi bw’emisango.
Ate Ssenkulu wa Buganda Land board, Omuk. Simon Kaboggoza alabudde abantu abaasisira ku ttaka ly’enyanja ya Kabaka era abaliwo mu bukyamu kw’ossa n’okolerako, okwetereeza nga singa kinaabalema baakuyita mu mateeka.









