Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bukwataganye n’ebibiina eby’obwannakyewa ebyegattira mu mukago gwa ‘Girls not Brides’ okulwanyisa embeera y’abaana abafuna embuto nga tebanneetuuka.
Bano olwa leero ku Mmande bakung’aanidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo nebakubaganya ebirowoozo ku butya bwebasobola okukomya ebikolwa bino wansi w’omulamwa ogugamba nti “Abaana, n’abakulembeze ab’Ennono okwegatta okulwanyisa obufumbo bw’abato, embuto mu baana abatanneetuuka n’okutumbula eby’enjigiriza”
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Buganda, Owek. Robert Serwanga bw’abadde ayogerera mu nteekateeka eno asabye ab’ebyokwerinda okusitukiramu bakwate abakola ebikyamu ku baana abato okusobola okukomya omuze guno.
“Mu Buganda wano okufunira olubuto ku luggya kivve, era nazzikuno ng’abaana beewala nnyo okufuna olubuto obutaswaza bazadde baabwe n’ennyumba mwe bava, nga n’omuzadde eyalabiriranga obulungi omwana n’akula okutuuka okufumbirwa nga talabye ku musajja yenna, nga aweebwa ebirabo okuva ku buko,” Owek. Serwanga bw’ategeezezza.
Minisita Sserwanga agasseeko nti waliwo abakola ebikyamu ne basalawo okwekweka mu bitiibwa, mu ddiini nemu mbeera endala, era agambye bano tebasaana kuttira ku liiso wabula bakolweko omukono ogw’amateeka.
Ono annyonnyodde nti enkuza ennungi ey’omwana ng’alambikibwa mu mpisa n’okussa ekitiibwa mu bantu kikola kinene nnyo mu kutaasa abaana okufuna embuto nga tebanneetuuka.
Owek. Sserwanga akalaatidde abaana abato okwewala ebikoosi by’abalina emize ng’okozesa ebiragalalagala kubanga muno mwe muva ababasindiikiriza okwenyigira mw’ebyo ebivaamu embuto. Akubirizza abakyaali mu masomero okussa omwoyo ku kusoma kwabwe baleme kubuzibwavuzibwa buntu butono kubaggya ku mulamwa.
Wano ababangudde abaana ababaddewo okuli; Owek. Rashid Lukwago, Hon. Margaret Makhoha n’abasomesa abalala bakubirizza abazadde okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana naddala mu kiseera kino nga bagenda mu luwummula oluwanvu.
Bategeezezza nti ebiseera ebisinga omwana akola ebyo by’alaba abazadde bakola na bwekityo ebyo bye banaalaga abaana nabo bye banaakola.
Mu nteekateeka eno, Abaana baweereddwa omukisa okutuusa ebirowoozo byabwe ku mulamwa guno.