Bya Gerald Mulindwa
Nyenje – Kyaggwe
Obwakabaka bukuzizza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu, okujjukirirako ameefuga ga Buganda agabaawo buli 8 October.
Entikko y’emikolo ebadde Kyaggwe ku mbuga ye Ggombolola Mutuba V Nyenga ku Lwokubiri, wansi w’omulamwa, “Bulungibwansi mu bavubuka abateeketeeke ge maanyi ga Buganda” nga Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu.
Kamalabyonna asoose nakutongoza mayiro ya bulungiwansi Ssaabasajja Kabaka gyeyaggulawo mu 2018 mu Ggombolola ya Mutuba V Wakisi, mu Kyaggwe.
Bw’abadde ayogera, Kamalabyonna Mayiga ajjukiza Obuganda nti Ssekabaka Tembo ye yaleegesa eng’oma Ssaagala Agalamidde naatongoza enkola ya Bulungibwansi olwo abantu ba Buganda nebayiga okukolera awamu.
Katikkiro Mayiga avumiridde enkola ya Bamusigansimbi abazimba mu ntobazi, kyagamba nti kikoze kinene okutyoboola obutondebwensi.
Ono agasseeko nti olw’okuba Buganda erina omugabo mu Uganda, ate nga ye yawayo obwetwaze mu 1962 ng’eyita mu Ssekabaka Muteesa, kikulu okukuza ameefuga ga Buganda nga bakola Bulungibwansi.
Era akuutidde Abaami okugatta abantu ba Kabaka mu biti byonna bye balimu awatali kusosola kubanga bonna baana ba Kabaka kasita oli akimanya nti Kabaka ye kitaffe.
Era abasabye banyweze ensonga ssemasonga ettaano ng’ekkubo okugatta abantu olwo abalabe ba Buganda bajja kubulwako we bayita.
Yeebazizza abaleese abaana abato kubanga omulamwa gw’omwaka guno gukwata ku bavubuka nga kino kiraga nti okweyonja n’okulongoosa mubitundu gyebabeera kubeera kusigiddwamu ensigo esuubirwamu ebibala.
Minisita w’Obutonde ne Bulungibwansi n’Ekikula ky’ Abantu, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nassejje ategeezezza nti bakoze Bulungibwansi ow’omuggundu era yabunidde ddala amasaza gonna era nebabangulwa mu misomo ku ngeri gyebasobola okukuuma Obutonde era beeyamye okuyonja ennyanja ya Kabaka buli mwezi okugitaasa obutasaanawo.
Owek. yeebazizza Ssekiboobo n’olukiiko lwe olw’enteekateeka ennungi gyebakoze okufuula omukolo guno ogw’ekitiibwa era naabakuutira okunyweza enkola ya Bulungibwansi.
Minisita wa Bulungibwansi n’obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, akubirizza abantu okwemanyiza enkola ya bulungibwansi eyo mu bitundu gye babeera bakuume obuyonjo.
Ate Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek. Joseph Kawuki, ategeezezza Katikkiro nti wetutuukidde ku lunaku luno nga abaami bonna bamaze okubangulwa mu nsonga z’obukulembeze, era bangi batuuziddwa.
Owek. Kawuki n’asaba Abaami okukola emirimu gya Beene nga beesigama ku bwesigwa bweyabateekamu era banyweze emisingi gy’obukulembeze bw’o bwakabaka ku mitendera gyonna.
Ku mukolo guno Abaami ba Kabaka abatwala ekitongole kya bulungiwansi mu Kyaggwe, baweereddwa ebintu ebikozesebwa mu kukola bulungibwansi, omuli; ebitiiyo, enkumbi, kawuuba n’ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Israel Kazibwe, Minisita Amis Kakomo, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Chotildah Nakate Kikomeko n’abakungu abalala.