
Bya Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga akulembeddemu Obuganda mu kusabira omugenzi Sarah Kaddu Sserunkuuma owe Lukuli eyavudde mu bulamu bwensi eno. Sarah ye mukyala w’omugenzi Kaddu Sserunkuuma eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda eyaffa nga May 13 2019. Okusaba okwabadde mu muzikiti e Kibuli kwetabiddwako Omulangira Kassim Nakibinge, omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiiya e Mengo, Prof Twaha Kigongo Kaawaase, bamulekwa, n’abakungu abalala bangi. Katikkiro yeebazizza omugenzi olw’okugunjula obulungi abaana baabwe, naagamba nti mu baana ensi mwegenda okufunira ekifaananyi ky’obuweereza bwa bakadde baabwe. Supreme Mufti, Siliman Kasule Ndirangwa, yakuutidde abantu okweyisa obulungi era bajjukire nti waliyo okufa, era okufa ye muwulize atalinda. Sarah yaziikiddwa eggulo ly’aleero e Nsozibbirye mu Butambala.