
Bya Shafik Miiro
Katwe – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Nnyina wa Owek. Ritah Namyalo Waggwa, Nakato Mary Nakiwala era nebumwebaza olw’okulera obulungi abaana be nebasobola okuweereza Obwakabaka ku mitendera egy’enjawulo.
Obubaka buno busomeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Kaawaase Kigongo bw’abadde ayogerako eri abakungubazi abakungaanidde ku kkanisa ya ‘Maytrs’ Church Katwe’ ku Mmande.
Owek. Kaawaase Omugenzi amwogeddeko ng’omuntu abadde omukakkamu, omwetowaze era eyakuza obulungi abaana n’atuuka n’okufunamu Kabaka be yasiima n’awa Obwami.
Owek. Kaawaase yebazizza abaana b’Omugenzi olw’okumulabirira era akubirizza abantu okukomya embeera y’okulambula n’okuwuliza bazadde baabwe mu luvannyuma lwa mwaka, ono agamba nti omuzadde ateekwa okukeberwako buli kiseera naddala okumanya bwali, naye okumanya abaana bwe bali. Asaasidde nnyo ab’enju era n’asaba Katonda abagumye n’omugenzi amuwummuze mirembe.

Bwabadde abuulira akulembeddemu okusabira omugenzi, Rev. Canon Godfrey B.K Buwembo ng’ono akubirizza abantu bulijjo obutaggwamu ssuubi mu Katonda wakati mu mbeera ennungi n’eyokusoomooza nga balabira ku mugenzi. Atenderezza omugenzi olw’okwagala Katonda we, ate n’olwokuwagiranga emirimu gy’ekkanisa awatali kwekkanya.
Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ayogedde ku omugenzi era Nnazaala we ng’omuntu alese omukululo ogw’ebikolwa, ng’agamba nti buli muntu abadde amuliraana ng’alina ky’amuyigirako ate nga bwekituuka ku ngeri gye yakuzaamu abaana be nga kisukka kubanga yabagunjula bulungi ddala. Wano w’asabidde abazadde okusiga empisa mu baana baleme kuzibalaamira bulaamizi nga balowooza nti baanaziyigira ku bantu balala.
Abooluganda lw’omugenzi n’emikwano bonna bamutenderezza obugumiikiriza, omukwano n’okwagala by’abadde abalaga. Omugenzi Nakato Nakiwala ayogeddwako ng’omuntu abadde ayaniriza buli omu, omukozi ate omugabi ng’awagira nnyo emirimu gy’ekkanisa n’abantu kinnoomu okulaba nga beesitula.

Okusaba kw’okwebaza olw’obulamu bw’omugenzi kwetabiddwamu, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita mu Gavumenti ya Kabaka ney’awakati Abakungu ab’enjawulo, abooluganda, n’abantu abalala.
Omubiri gw’omugenzi gujja kuziikibwa enkya ku lwokubiri nga 07 Gatonnya 2025 e Ssemuto mu Bulemeezi.









