
Bya Ssemakula John
Obwakabaka bwa Buganda bungubagidde eyali omuwanika wa Buganda Ainiya Ntaate Kwatabalyawo eyavudde mu bulamu bwensi ku Lwokuna lwa wiiki ewedde.
Obubaka bwa Buganda bwetikiddwa Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa.
“Emirimu mukadde waffe ono gyakoze mu Buganda gimanyiddwa era gyogeddwako naye era girabikira nnyo mu baana be ab’obuvunaanyizibwa abaweereza eggwanga lino obutaweera, mukama tumwebaza olwekyo. Twongera okusabira Nnamwandu n’abaana, ” Owek. Waggwa bw’agambye
Owek. Nsibirwa asinzidde wano nasiima emirimu omugenzi gyeyakola wakati wa 2005 -2006 mu kiseera eyali Katikkiro Dan Muliika weyakwatira Ddamula.

Wabaddewo okusabira omwoyo gw’omugenzi nga kukulembeddwamu omubuulizi wa St. John’s Kabunza Fred William Kimera ng’ono asabye abantu okulowooza ennyo ku mukulululo gwebagenda okulekawo.
Ku lw’abaana b’omugenzi era akulira eddwaliro lye Mmengo, Dr. Rose Mutumba Ntaate yeebazizza kitaabwe olw’okubaagala awamu n’okwagala ensi ye Buganda.
Kinajjukirwa nti omugenzi Owek. Aineya Ntaate yakolako mu kitongole kya Mawanga amagatte wansi wa United Nations Development and Planning e Dakar wakati wa 1970-1978.
Mu mwaka 1980 yalondebwa okubeera omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi gyeyava nafuuka ssenkulu wa Uganda Co-orperative Bank mu 2005- 2006 n’oluvannyuma Beene namulonda okubeera omuwanika wa Buganda.









