
Bya Miiro Shafik
Kololo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Abaami ba Kabaka ab’enjawulo, Nnaabagereka Sylvia Nagginda n’abakungu abalala okukungubagira Kyamukungubya Nsereko Kiwanuka mu maka ga bazadde be e Kololo.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y’atuusizza obubaka bw’Obwakabaka obw’okusaasira eri bazadde b’omugenzi Omuk. Mohan Kiwanuka eyaliko Omumyuka wa Ssentebe wa bboodi ya Namulondo Investments ne Omuk. Hon. Maria Kiwanuka, Ssentebe wa bboodi ya K2 Telecom omuwummuze, era eyaliko Minisita w’Ebyensimbi mu Gavumenti eya wakati.
Owek. Kaawaase alaze okusaalirwa okw’amaanyi olw’engeri ey’ekyekango omugenzi mwe yafiiridde ate ku myaka emito ddala. Ono agamba nti abazadde bangi abafiirwa abaana baabwe mu ngeri ey’ekibwatukira ensangi zino kyokka abagumizza ng’agamba nti zino zonna zibeera nteekateeka za Katonda.Owek. Kaawaase asaasidde ab’enju omugenzi mw’ava, abooluganda n’emikwano olw’okuviibwako omuntu waabwe bwatyo n’abakwasa Katonda abagumye mu mbeera gye balimu ate n’omugenzi amulamuze kisa.

Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Kojja w’omugenzi Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde omwetowaze ayagala ennyo okukola awatali kweganya mu beera yonna, era agamba nti ono abadde teyegulumiza newankubadde amaka mwava ga maanyi, asabye Katonda amulamuze kisa n’abasigaddewo abagumye abawe essuubi.
Hon. Maria Kiwanuka Maama w’omugenzi Kyamu yebazizza abantu bonna abayimiridde nabo mu kiseera nga baviiriddwako omwana waabwe asembayo obuto gw’ayogeddeko ebintu bingi by’agambye nti bijja kulwawo nga bimujjukirwako ebbanga lyonna.Ono ayogedde ku mutabani we ng’omuntu abadde ayagala nnyo okuvuganya okw’obulungi okuviira ddala nga muto ng’ayagala nnyo okukola ne bakulu be, ng’anyumirwa nnyo ebyemizannyo era ng’azzaamu bonna babeera nabo amaanyi era bg’ayagala abantu.
Hon. Maria Kiwanuka agamba nti mutabani we abadde ayagala nnyo okukola ate atayagala kuteganya muntu yenna kw’ekyo ky’alinako obusobozi, ate ng’aluubirira okuweereza mu ngeri esinga okubeera ennungi.
“Yafuna omulimu mu DFCU naye abantu tebasooka kukkiriza nti kyeyali agenda okukola yali akisobola, wabula yatandikira okuweereza ku Wilson road, n’alinnyisibwa okugenda ku Impala House ate oluvannyuma n’addizibwa e Lugogo kyokka nga bonna b’aweereza beenyumiriza mu nkola ey’emirimu” Hon. Maria Kiwanuka.

Kyamukungubya Nsereko Kiwanuka yazaalibwa nga 8 Kasambula 1991, okusoma kwe yakutandikira Greenhill Academy ate oluvannyuma lw’okumalako siniya, yagenda ebweru mu gye yafunira diguli 2; emu mu byenfuna mu University of Connecticut, ate diguli eky’okubiri mu ‘Real Estate’ yagifunira mu University of Denver mu USA.
Kyam nga bw’abadde asinga okuyitibwa yafa nga 2/09/2025 ku myaka 34 gyokka, omutima gwe gwasirika ng’ali mu nju gw’abadde abeera mu America. Ono waakuziikibwa nga 17/09/2025 e Kiwatule.









