
Bya Ssemakula John
Lubaga – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bujjukidde bwegiweze emyaka 100, Ssekabaka Sir Edward Luwangula Muteesa II gyeyandibadde nagyo era nebatendereza emirimu amakula gyeyakolera ensi ye Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.
Emikolo emikulu giyindidde mu Lutikko e Lubaga ewabadde ekitambiro kya mmisa ekitegekeddwa Ekelezia n’Abenju ya Ssekabaka Edward Muteesa II ku Lwokubiri okumusabira nokujjukira byeyakola era yeetabiddwamu Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Lubuga Agnes Nnaabaloga, Abalangira nga bakulembeddwamu David Kintu wassajja, Abambejja, Bakatikkiro abawummula n’ abebitiibwa ab’enjawulo.
Bw’abadde ayigiriza Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere asabye bannayuganda naddala abakukembeze bulijjo okwewala ebikolwa ebiyinza okuviirako embeera y’obutabanguko mu ggwanga nokuttattana ebifo abantu gyebandiddukidde ate okufuna okuyambibwa.
Ssaabasumba era asabye abakulembeze okulabira Ssekabaka Edward Muteesa II eyali ayagala ennyo Eggwanga lye.
Ssaabasumba Paul ssemogerere akalaatidde abantu bonna okweyisa obulingi eri abalala n’okukola ebyo byebateekeddwa okukola mungeri ennambike obulungi era beewale obutabanguko kubanga buzza eggwanga emabega.
Ono agasseeko nti Ssekabaka Edward Muteesa II yali musajja Njasabiggu nga yalwanirira nnyo eddembe lyobuntu bwatyo naasaba abalala okumulabirako.

Ku lw’ Abalangira n’Abambejja, Omulangira David Kintu Wasajja era nga yatuusizza obubaka bwa Ssaabasajja era ono asiimye Ssaabasumba n’Ekelezia olw’okukuuma omukwano n’omukago eri Obwakabaka, kubanga Ekelezia ky’ekifo Ssekabaka Muteesa II weyeewogomanga nga Olubiri lulumbiddwa.
Nnyinimu era asomoozeza Gavumenti eyawakati okwesuulirayo ogwannagamba mu kuyamba Obwakabaka ku bintu ebyenkizo ebiyamba eggwanga lyonna naagisaba okukyusaamu.
Ye Omumyuuka ow’Okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’Owekitiibwa David Mpanga boogedde ku Ssekabaka Muteesa II nga eyali omuntu omwetowaze, omukakkamu era ayagaliza abalala.
Abantu abalala abetabye mu kusaba kuno nabo boogedde ku Ssekabaka Muteesa II ng’omuntu eyawaayo obulamu bwe n’ebitiibwa bye okutaasa ensi Buganda n’okukuuma ekitiibwa kyaayo mu biseera ebizibu.
Kinajjukirwa nti Ssekabaka Edward Muteesa II ye Kabaka wa Buganda owa 35 era ye Pulezidenti wa Uganda eyasookera ddala, Ono ajjukirwa nyo olw’okulwana okulaba nga Uganda efuna obwetwaze, okwagala ensiye wamu n’Okulwanilira eddembe lyobuntu, mu kaseera kano Ssekabaka Edward Muteesa yandibadde aweza emyaka 100, wabula kati giweze emyaka 55 bukyanga aggya omukono mu ngabo.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo omuli, Bakatikkiro abawummula okuli; John Baptist Walusimbi, Mulwanyammuli Ssemwogerere, Omubaka wa Paapa eyawummula Ssaabasumba Augustin Kasujja, abaaliko baminisita ba Kabaka, ababaka ba Palamenti, bannabyabufuzi n’abantu abalala.









