Musasi waffe
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya, Owek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asisinkanye Omulangira Yuda Kayemba Namuyonjo XIV ku Bulange.
Namuyonjo abadde wamu n’omutaka Namutwe Christopher Kaddu, n’omuwandiisi we ow’ekyama Hassan Bamuwaayira.
Ensisinkano yetabiddwamu, Ssaabawolereza w’obwakabaka Owek Christopher Bwanika, ne Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi Owek David Kyewalabye Male.
Boogedde ku kunyweza enkolagana wakati wa Gavumenti ya Kabaka ne Namuyonjo, okulaakulanya olubiri lwe Wabunyonyi e Bugerere, era boogedde ku ngeri Namuyonjo gyalina okuddukanyamu emirimu gye nga agyesigamya ku buwangwa n’ennono n’okulaba nti ekitundu kye Bugerere kitebenkera awatali kuwulirayo maloboozi gayinza kuvaamu butali butebenkevu.
Obwakabaka bweyamye okusomesa abaana ba Namuyonjo, okufuna ebibajje mu Lubiri lwe Wabunyonyi, wamu n’okumuwagira mu mirimu gye.
Owek Kaawaase ategeezezza nti Namuyonjo bamulinamu essuubi ddene okulaba nti ajja kutambuza ennono n’obuwangwa nga Beene bweyalambika nti ye mukulembeze ow’ennono e Bugerere.