
Bya Shafic Miiro
Namirembe
Ekkanisa ya St. Paul’s Cathedral, Namirembe ekubyeko bugule mu kusabira omwoyo gw’Omugenzi Owek. Joyce Rovincer Mpanga ekiraga omukululo gwazimbye era gwalese mu bantu ne mu bitongole eby’enjawulo.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika, yaasomye obubaka bwa Katikkiro eri ab’enju y’omugenzi.
Katikkiro agambye nti amawulire g’okufa kw’Owek. Mpanga okw’ekibwatukirwa gaabakubye enkyukwe kubanga omugenzi abadde mugumu nnyo nga ne mu lutuula lw’Olukiiko olusembyeyo nga 25 Mutunda omuwala guno yaliwo era yalabika bulungi ne yeetaba ne mu kuteesa. ayongeddeko nti wabaddewo essuubi ddene nnyo nti Joyce akyaliwo ekiseera.
“Obwakabaka ne Namulondo bufiiriddwa omuntu ow’enkizo era ow’ebyafaayo eby’amaanyi ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II ate n’Omutebi” , Mayiga. Ayongeddeko nti omugenzi n’Omwami we bawagira nnyo Ssekabaka Muteesa II mu biseera ebizibu mu buwanganguse era ne batamwabulira. Bano era bayambako Omulangira Mutebi okukola emikolo egy’ennono nga Ssekabaka Muteesa akisizza omukono ate ne bayimirira naye okutuuka lwe yatikkirwa. Agamba nti omugenzi abadde omu ku bantu ab’okumwanjo ennyo mu buli nsonga ezikwata ku Bwakabaka n’Eggwanga, abadde mukiise mu lukiiko lwa Buganda ow’omuzinzi okuviira ddala mu 2009 ng’ateesa n’essimba mu buli lutuula .
Mukuumaddamula agambye nti obuwereeza bw’Owek. Joyce Mpanga eri Eggwanga lye Buganda n’Ensi Uganda bujja kujjukirwa ebbanga lyonna. Asaasidde nnyo Oweek. Daudi Mpanga wamu ne baganda be, ab’enganda n’abantu ba Kabaka bonna.

Okusaba kuno kwetabiddwako Nnaabagereka ba Nnaalinya; Agnes Nabaloga ne Sarah Kagere, Abalangira n’Abambejja, ba Minisita ba Kabaka, Abaami b’Amasaza, abakungu b’ebitongole, abakulembeze okuva mu gavumenti eyaawakati, bannaddiini, bannabyabufuzi n’abantu abalala bangi.
Abaana b’omugenzi n’aboluganda beebasizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okutambula ne Maama waabwe, era naye bamutenderezza nnyo olw’okubakuza obulungi, okuzimba n’okubaggulirawo emikisa emingi gyebatambulirako olw’emirimu n’omukululo gwalese.
Obwakabaka bunganzise bendera n’ekimuli ku mugenzi mu kussaamu ekitiibwa n’okusiima byakoze, waakuziikibwa enkya e Maya ku saawa kkumi era waakukubibwa emizinga esatu, oluvannyuma lwa gavumenti okusalawo aziikibwe mu bitiibwa by’abazira.









