Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka nga buyita mu kibiina ky’Olulimi Oluganda butegese olujjuliro nga bujjukira emyaka 75 bukya kibiina kino kitandikibwawo.Nnaalinya

Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno oguyindidde ku Bulange e Mmengo, akinooganyiza nti olunaku luno ssi lwakujaguza n’akuweza myaka 75 wabula okujjaguza obulungi obwekusifu n’omwoyo gw’oluganda ogw’oluberera.
“Oluganda kw’ekukuba kw’omutima gw’obusika bw’Abaganda, ly’etterekero ly’amagezi g’Omuganda era omwoyo gwe nnyini ogw’abantu ba Buganda,” Nnaalinnya Lubuga.Nnaalinnya

Nnaalinnya Nabaloga agamba nti okuva edda n’edda, Oluganda okugenda mu maaso kizze nga kisoboka lwa kufuba okugenderevu mu nsi nga Uganda eddukira ku misinde egya yiriyiri nga mulimu Olungereza n’ennimi endala engwira ezeddiza emikutu gy’ebyempuliziganza okukola emirimu gy’ekikugu, bwatyo n’akikaatiriza nti okwewayo kw’ekibiina kya lulimi Oluganda okukuza, okutambula n’okusitula olulimi luno bikulu nnyo.Lubuga
Lubuga Nabaloga akubirizza Abaganda bonna okufuuka ababaka b’olulimi Oluganda nga batereeza n’okuyigiriza abo abalusobya wakati mu kubagumiikiriza n’okulwogerera buli wamu we kisobokera nga bakozesa obugagga bw’ebigambo obuli mu Luganda.Minisita
Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko nga y’akiikiridde Minisita w’Obuwangwa ku mukolo guno agamba nti omukolo guno gwa maanyi mu Bwakabaka nga guli ne mu nteekateeka ya Minisitule y’Obuwangwa ey’omwaka.
Minisita agamba nti Obwakabaka bwatuukirirwa gavumenti eya wakati mu nteekateeka y’ensoma empya okwongera okunnyikiza ebirina okusomesebwa mu lulimi Oluganda era kya muwendo nti ebiteeso by’Obwakabaka byateekedwa mw’ebyo gavumenti by’egenda okukola.

Ssentebe w’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda Omuk. Grace Lubowa Nansubuga alaze obwennyamivu olw’abazadde abalekeredde abaana ne beesulirayo ogw’anagamba eri omwana omulenzi ng’agamba nti asuuliddwa nnyo olw’abazadde okutiitiibya ennyo omwana omuwala era kino agambye kya bulabe kisaana okukyusibwa.
Mw. Kasule Kalule, ono amaze emyaka 50 mu kibiina ky’Olulimi Oluganda attottodde olugendo lw’ekibiina kino okuviira ddala ku ntandikwa yaakyo, ategeezeza nti kiyise mu kusoomoozebwa omuli abantu abalwanyisiza olulimi okubaawo ate nga n’okutuuka kati wakyaliwo abalulwana. Wano w’ategerezza abantu nti Oluganda lwali luweebwa eddakiika 15 ku mukutu gw’ensi yonna ogwa BBC mu myaka gya 1950 nga lwakozesebwako n’abakulembeze abamu mu Uganda nga boogera mu nkiiko z’ekibiina ky’amawanga amagatte.

Wabaddewo emisomo egy’enjawulo egyekuusa ku lujjuliro lw’Omuganda owedda n’engeri gy’ateekeddwa okweyisaamu ku lujjuliro.
Omukolo guno gwetabiddwako Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Enkulakulaana y’Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, ababaka b’Olukiiko lwa Buganda ab’enjawulo, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Namwama Augustine Kizito Mutumba, Jjajja w’Olulyo Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo, Abalangira n’Abambejja awamu n’abantu ab’enjawulo.









