Bya Shafik Miiro
Makindye
Obukulembeze bw’abavubuka ku mutendera gw’emiruka butongozeddwa ku mukolo ogubadde mu Mbuga y’eggombolola ya Makindye Mutuba III era nga kitegeezeddwa nti enteekateeka y’okulonda obukulembeze buno egenda kutambuzibwa mu ggombolola zonna okwetoloola Buganda. Enteekateeka eno etongozeddwa minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Minisita Robert Serwanga era abakulembeze abalondeddwa nebakuba ebirayiro okutandika obuweereza mu butongole.

Owek. Serwanga asinzidde ku mukolo guno n’akubiriza abavubuka okubeera obumu n’okufaayo okugaziya okumanya kwabwe kibayambe okukula n’okuteekebwateekebwa mu by’obukulembeze. Owek. Serwanga agamba obukulembeze bukolebwa baliwo era ayagala okubwenyigiramu talina kwebulankanya bwatyo nasaba abakulembeze b’abavubuka ku mitendera egy’enjawulo okufaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Mu ngeri yeemu, Minisita Serwanga akuutidde abavubuka okweyambisa emikutu gy’ebyempuliziganya egy’Obwakabaka emitongole basobole okugoberera n’okumanya ebigenda mu maaso mu Bwakabaka n’okwewala okulimbibwa ku mitimbagano.

Obukulembeze bw’Abavubuka buzimbibwa okuva ku Masaza, Eggombolola nga, buteereddwa ne ku Miruka okwongera okukumaakuma abavubuka ba Buganda batambulire mu buwuufu bwa Ssaabasajja Kabaka n’okulambikibwa kwa Gavumenti ye.









