Bya Maria Gorreth Namisagga
Lubaga – Kyaddondo
Lukenge Stephen muweereza mu kitongole Kya Kabaka ekya Nkuluze ng’ono y’akulira okulabirira embiri za Kabaka, ono agattiddwa ne mukyala we Namulindwa Annet mu Lutikko e Lubaga.

Missa ey’okubagatta ekulembeddwamu Omusumba ow’e Kasana – Luweero Rt. Rev. Lawrence Mukasa, era ono mu kubuulira kwe asiimye nnyo Obwakabaka olw’okuzimba obulungi Lukenge n’afuuka omuntu ow’obuvunanyizibwa ddala okutuuka okukuba empeta nga muvubuka.
Bishop Lawrence Mukasa abagole abasibiridde entanda ya miramwa egiwerako we babeera batambuliza obufumbo bwabwe, okuli okuwulizigannya, obwesigwa, okuwaŋŋana ekitiibwa n’ebirala, olwo obufumbo bwabwe bujja okuwangaala.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe bw’atisse Omumyuka we Owookubiri era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, alaze essanyu olw’abavubuka abevaamu ne bafuna ababeezi be baba bagenda okuwangaala nabo,ate naddala nga baweereza ba Bwakabaka, kyokka nti balina okukimanya nti obufumbo ndagaano ya lubeerera.
“Mulina okukimanya nti obufumbo Ndagaano ey’olubeerera, endagaano ebeerako enjuyi Bbiri era afaananako okutta omukago, mu mukago buli omu amanya ekifa ku munne; buli omu akolerera obulungi bwa munne; buli omu akuume munne; buli omu ataasa munne” Mayiga.
Bwatyo Kamalabyonna asabye omukyala okuwagiranga bba mu mirimu gye asobole okugituukiriza obulungi kubanga gikooya ate gyetaaga obudde.

“Stephen Lukenge y’akulira okulabirira n’okuddaabiriza Embiri mu Bwakabaka, omulimo gukooya ate gwetaaaga obudde. N’olwekyo Annet kiba kirungi n’omuwagira asobole okutuukiriza obuweereza bwe eri Ssaabasajja nga musanyufu” Katikkiro.
Ku lulwe, Owek. Nsibirwa ayozaayozezza Steven ne Annet Lukenge olw’okutuuka ku kkula ery’obufumbo obutukuvu.Ayogedde ku Steven Lukenge ng’omusajja omukakkamu ennyo, akola emirimu mu bwegendereza ate mu bwangu, amusabye bino bw’aba abikola ne mu bufumbo, amwebazizza okwevaamu okwawukana ku bavubuka abamu abatya obufumbo abaagaliza obufumbo obulungi.
Mmissa eno yeetabiddwamu Baminisita; Owek.Yozefu Kawuki, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek.Noah Kiyimba, Abakungu; John Kitenda, Simon Kabogozza n’abakozi b’Obwakabaka, n’abantu abalala bangi.









