Bya Samuel Stuart Jjingo
Kitovu – Masaka
Katikkiro Charles Peter Mayiga akalaatidde abavubuka okuwasa nga bakyali bato kubanga kibayamba okuba ab’obuvunaanyizibwa.
Bino Katikkiro abitadde mu bubaka bw’atisse Omumyuka we Owookubiri era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde yetabye mu mmisa y’embaga ya mutabani wa Oweek. Ronald Bbaale Mugera, Bbaale Aloysious Mugera awamu ne mwana munne Mirembe Barbra Priscilla.

“Kirungi nnyo abavubuka okuwasa/okufumbirwa nga bakyali mu myaka emito, kubanga kibayamba obutabutaabutana nga balemeddwa okusalawo. Okufuna obufumbo amangukibayamba okuba ab’obuvunaanyizibwa ate n’okusalawo amangu mu mbeera zonna.Nneebaza abazadde ku njoyi zombi olw okugunjula n’okuteekateeka abaana obulungi ne batuuka ne ku kkula lino ery’obufumbo.” Katikkiro.
Katikkiro agamba nti olugendo lw’okuzza Buganda ku Ntikko Iwetaaga amaka agatebenkedde obulungi n’olwekyo abavubuka abettanira obufumbo ssuubi ddene mu nkulaakulana ya Buganda.
Owoomumbuga atenderezza Oweek. Bbaale Mugera olw’okwagala n’obuweereza eri Kabaka we n’asaba ensigo eno esigibwe n’emu baana be.
“Owek. Ronald Bbaale Mugera, muweereza munaffe mu Bwakabaka, mukiise mu Lukiiko Iwa Buganda Olukulu, ng’akiikiririra abantu ba Ssaabasajja ab’e Buddu. Mukiise mujjumbize era muteesa mulungi. Nsuubira nti ensigo eyo ey’okwagala Kabaka we agisize ne mu baana.” Katikkiro.Ye

Ye Oweek. Nsibirwa mu bubaka bwe, agamba nti abafumbo bano bafunye obuvunaanyizibwa olw’okubanga nti buli anababuuzangako ajja kujjuliza abantu babiri abafuuse omuntu omu.
Ssaabasumba Augustine Kasujja abakuutidde okwagalana ng’abafumbo bwe basaanidde era bafube okuggyawo obumulumulu bwonna obuba buzzeewo wakati waabwe.









