![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/Ggr3r1TXsAAz_jl-1024x683.jpg)
Bya Ssemakula John
Namirembe – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti obufumbo bukulu nnyo kubanga buyamba abantu okutebenkera mu bulamu nebasobola okutuuka ku byensonga.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde yeetabye ku mukolo gw’okugatta omuweereza Simon Ssenkaayi ne Rose Sylvia Nakafu mu bufumbo obutukuvu mu Lutikko ya St. Paul e Namirembe ku Lwokubiri.
“Okuwasa ky’ekimu ku bituleetera okutebenkera mu bulamu, era mu Buganda ey’edda nga omuwuulu talya bwami, kale obufumbo musingi mukulu ogw’Eggwanga, omusajja mw’ateekeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga Ssemaka n’omukyala n’abeera ow’eggonjebwa, omugumiikiriza era omukwatampola,” Kamalabyonna Mayiga bw’alambise abagole.
Bano abasabye okubeera abagumiikiriza era nabaagaliza obufumbo obw’essanyu.
Akuliddemu omukolo gw’okugatta kuno, Omulabirizi we Namirembe eyawummula, Rt Rev. Wilberforce Kito Luwalira asabye abantu ababeera babuulirira ababeeraa bewangulidde ekkula eryobufumbo obutababuulira bitiisi mu bufumbo ebiyinza okubakanga okubwanganga.
Omulabirizi Luwalira era asabye Ssenkaayi ne munne okuzimba amaka amalungi era agesigamye ku katonda.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2025/01/Ggr3r1TXkAAG6a0-1024x683.jpg)
Omukolo guno gwetabiddwako Katikkiro Eyawummula Mulwannyamuli Ssemwogerere, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita Amis Kakomo, Minisita Christopher Bwanika, Minisita Israel Kazibwe Kitooke, Minisita Robert Sserwanga, Minisita Chotilda Nakate Kikomeko n’abakungu abalala bangi.
Oluvannyuma abaagalana bano basembezza abagenyi babwe ku mukolo ogwetabiddwako namungi womuntu e Munyonyo.