Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku lunaku lwe tujaguza nga tujjukira okuzuukira kwa Mukama waffe, Yesu Kristo.
Olunaku luno lutujjukiza omukwano n’obusaasizi bwa Katonda bw’alina eri abantu be. Tubasaba lutujjukize obuweereza n’obuvunaanyizibwa obutuweebwa mu maka, ebitongole bya gavumenti, ebyobukuumi n’okwerinda nga tukola ebyo ebiyamba abantu be tuweereza. Tumanyi nti ensimbi ezikozesebwa mu gavumenti ziva mu misolo gye tuwa naye, obuweereza obutuusibwa ku bantu baffe naddala mu malwaliro tebumatiza.
Tulaba obwetavu bweyongedde mu byobulamu era Amalwaliro mangi temuli bikozesebwa. Mu bitundu ebisinga obungi naddala mu byalo. emmotoka ezitambuza abalwadde abayi ntono, ezimu zaafa ate awalala teziriiwo. Waliwo n’amalwaliro ge tulaba ku ttivi ng’ebyuma ebikola ku balwadde byagulibwa naye nga bimaze emyaka n’emyaka nga tebiyungibwanga bisobole okukozesebwa. Kuno kwe tugata amasannyalaze agavaako entakera ekiyinza okuviirako abantu okufa.

Tuwagira ebibuga ebitegekeddwa obulungi era bannansi bye beeyagaliramu naye empuliziganya wakati wa bannansi n’abakola ku mateeka esaana okuba ennambulukufu ate ekolebwenga mu budde. Okumalawo embeera eno, entegeka y’ebibuga esaana emanyisibwe abantu nga bukyali, n’obutalinda bantu kumala kuzimba ate ebizimbe byabwe ne bimenyebwa olw’obutagoberera mateeka. N’olwekyo, obuweereza abantu baffe bwe balimu busaana bukozesebwe bulungi ate mu bwenkanya kisobozese abantu baffe okweyagalira mu nsi yaabwe.
Tubaagaliza okuyita mu nnaku z`Amazuukira n’emirembe
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II









