Okusookera ddala nsanyuse nnyo okwaniriza Omutaka Augustine Kizito Mutumba, Omukulu w’ekika ky’e Kkobe omujja tumukulisa okutuuzibwa ku bwa Namwama.
Buno buvunaanyizibwa bwamaanyi era Bazzukulubo bakulinamu essuubi lingi, tulamusizza nnyo era ab’ekika kye Kkobe omuli abaamasiga, ab’emituba nablala abakuwerekeddeko.
Tusanyuse nnyo okubalaba nga muzze okutuukiriza emu ku mpagi enkulu ennyo mu bukuelmbeze bw’ebika byaffe.
Kano kabonero akalaga nti ebika byaffe byebinyweza ennono wano mu Buganda.
Obukulembeze mu bika gwemusingi ogw’okukulaakulana mu Bwakabaka n’olwekyo, twesunga nnyo okulaba ng’obukulembzee bwa Namwama omujja butaambuzibwa ku nnono nga buteekawo ebintu ebyenkulaakulana era ebintu ebijja okuyamba ebika okweyimirizaawo.
Era twesunga okulaba nga muteekawo emikutu mingi eginaayamba okukunga bazzukulubo okubeera obumu nga ab’ekkobe.
N’olwekyo tubakuutira nti okusooka esonga enkulu ey’okuzimba olutindo olugumu olw’empuliziganya okuviira ddala mu mpya za bazzukulubo okutuukira ddala ku kasolya.
Olutindo luno lujja kukuyamba okumalawo obutakkanya bwebuba nga bubaddewo mu kika.
Ensonga enkulu ey’okubiri, mu nteekateeka z’ekika zonna, twagala okulaba nga abavubuka bateekebwa ku mwanjo nabo basobole okutegeera obulungi ebyafaayo ne’nnono z’ekika kye Kkobe.
Ensonga enkulu ey’okusatu mu kika kye Kkobe nga bwekiri ne mu bika ebirala mulimu bazzukulubo bangi nnyo nga bayivu era nga bakola emirimu egy’enkizo era nga bakola emirimu egyenjawulo.
Abazzukulu bano, tukusaba okubakunga wamu n’olukiiko lwo babe nga beenyigira mu mirimu gy’ekika n’okukikulaakulanya.
Ensonga ey’okuna, ey’okukuuma ettaka n’ebifo ebikulu ebyebika byammwe, era nkusaba okulaba ng’ebintu bino bikuumibwa butiribiri ng’oko kw’ogatta okubiwandiika n’okubikulaakulanya.
Ate era tewali nsonga egaana ebika okuyingiza ensimbi nga birina ebifo ebyebyafaayo ebisobola okufuuka eby’obulambuzi ne muvaamu ensimbi.
Nsaba Omutaka omupya, okukolagana obulungi ne battaka banne naddala nga yeenyigira mu nkiiko z’abobusolya.
Nkusuubira okukolagana obulungi ne Katikkiro, nkusuubira okukolagana obulungi n’ebitongole by’Obwakabaka ku nsonga ez’enjawulo awo tusobole okugonjoola obulungi ne mubwesimbu, n’amazima n’obwenkanya esonga z’ekika kye Kkobe.
Njagala okubeebaza amakula ge muleese mwebale nnyo okwefiiriza ne mugaleeta wano.
Omutaka w’ekika kye Kkobe nina essanyu okukwagalaiza obukulembeze obulungi n’obuwanguzi.