
Ssaabasajja Kabaka aweerezza obubaka obukubagiza Abakristu mu Uganda n’Ensi yonna olw’okufiirwa Paapa Francis.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’agenze ku Lutikko e Lubaga okuteeka omukono mu kitabo ky’Abakungubazi.
Kabaka mu bubaka bw’awandiise eri Omubaka wa Paapa mu Uganda, The Most Rev. Archbishop Luigi Bianco amusaasidde nnyo olw’okufa kwa Paapa Francis era n’akubagiza Abakristu mu Uganda n’Ensi yonna olw’okuviibwako Omutukuvu Paapa Francisco
“Ekelezia n’Obwakabaka bwa Buganda bulina enkolagana ey’omuggundu eyeyolekera mu kussa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono n’ekiruubirirwa eky’awamu eky’okusitula embeera z’abantu. Ebbanga lyonna tutambulidde mu bigere by’ebimu okutuusa obuweereza ku bantu okusitula embeera zaabwe okuyita mu nzikiriza, ebyenjigiriza, ebyobulamu n’okubatuusaako enkulaakulana eza bulijjo” Kabaka Mutebi.
Omuteregga ategeezeza nti bwe yasisinkana Paapa Francis nga 24/11/2015 e Lubaga, baafuna ekiseera ekirungi ddala okwogera ku nsonga z’okukyusa embeera z’obulamu bw’abantu.
Nnyinimu agamba nti okufa kwa musajja wa Katonda ono, terireetawo kukungubaga mu bakatoliki bokka, wabula eri buli muntu akkiririza mu buntubulamu, okwagala eri abalala n’obumu mu bantu. Bwatyo atenderezza omukululo Paapa Francis gw’alese. Ategeezeza nti emyaka ekkumi n’ebiri (12) ono gy’abadde Paapa mubaddemu obuweereza obusukkuluma ku kweyagaliza, okuyimirirawo ku lw’empisa ennungi n’okunyweza okukkiriza mu Katonda.
Omutanda awonze bonna abali mu kiseera eky’okukungabaga mu mikono gya Katonda era n’asaba Mukama omwoyo gw’Omutuvu Paapa Francis aguwummuze mirembe.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lulwe ategeezeza nti Paapa Francis ayigirwako ebintu bingi ddala naddala amakulu agali kusomesa kwa bayibuli okwa buli muntu okwagala muntu munne ate n’okutegeera Katonda we.

“Embeera za Paapa Francis zonna zibadde zeetoololera mu kulaga kisa eri abantu, okubakumaakuma, n’okubabudaabuda, nze ku lwange ndowooza nti okwo kwe kukkiriza okutuufu” Katikkiro Mayiga annyonnyola nti ebikolwa by’omuntu bye bisinga okulaga okukkiriza okutuufu okw’omuntu, era nti kino Paapa Francisco akikoze bulungi era n’asiga ensigo.
Katikkiro bw’abadde agenda okuteekateeka omukono mu kitabo ky’abakungubazi awerekeddwako Baminisita Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Owek. Noah Kiyimba.