Kampala
Omusomesa w’ensonga z’amateeka ku Ssettendekero wa Makerere, Prof. Joe Oloka-Onyango ategeezezza nti ebikolwa bya Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba okutegeka obubaga bw’amazaalibwa awamu n’okwogera ku nsonga z’ebyobufuzi kiyisa olugaayu mu Ssemateeka era bikolwa bya kulya mu nsi lukwe.
Kino kiddiridde mutabani wa Pulezidenti Museveni era omudduumizi w’eggye ly’oku ttaka mu UPDF, Muhoozi okutegeka ebikujjuko by’amazaalibwa ge mu bibuga eby’enjawulo awamu n’okuwandiika ku mutimbagano nga alaga nga bweyetese okuddira kitaawe Gen. Yoweri Museveni mu bigere ku bwapulezidenti.
Prof. Oloka agamba nti kino kikyamu kuba Muhoozi akyali mu ggye lya UPDF nga ebikolwa bye eby’okwegwanyiza entebe y’Obwapulezidenti kuba kuwamba Ssemateeka wa 1995.
Ono anokoddeyo ennyingo ya Ssemateeka nnamba 208 (2), ekakasa nti eggye lya UPDF teririna kubaako naludda, lirina kuba lya ggwanga lyonna, ery’ empisa era erikola ebintu mu nkola ey’ekikugu naye bino byonna Muhoozi abiyisizaamu olugaayu.
” Ennyingo 208(2) eya Ssemateeka egamba nti UPDF terina kubaamu kyekubira, erina okulaga ekifananyi ky’eggwanga lyonna, okulaga obwagazi eri ensi Uganda, okukola n’obukugu, empisa era nga liweereza bannansi bonna. Sigenda kwogera bingi naye omuntu omu agezaako kuwamba Ssemateeka nga ayita mu byateeka ku Twitter n’okutegeka obubaga bw’amazaalibwa,” Prof. Oloka bw’ annyonnyodde.
Oloka annyonnyodde nti ebiri emabega w’obubaga buno byabufuzi byennyini era Muhoozi okubikola aga agezaako kujeemera Ssemateeka mu kumanya oba mu butamanya nasaba Palamenti eyingire mu mu nsonga eno mu bwangu.
“Ennyingo nnamba 3 nkulu nnyo kuba egamba nti omuntu yenna agezaako okuwamba Ssemateeka abeera alidde mu nsi olukwe era aba alina okuvunaanibwa. Kati n’omuntu ali mukutegeka obubaga bw’amazaalibwa okwetoloola eggwanga agezaako kuwamba Ssemateeka,” Oloka bw’alambuludde.
Wiiki ewedde, Omubaka wa Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu ne Ibrahim Ssemujju Nganda owa Munisipaali ye Kira, ensonga bagitwala mu Palamenti nga basaba Muhoozi akwatibwe era avunaanibwe okulya mu nsi olukwe.
Wabula Sipiika Anita Among Annet, bano yabategeeza nti tewali kikyamu na Muhoozi kujaguza mazaalibwa era nalaga nti singa ne Ssemujju ategeka akabaga k’amazaalibwa babaka banne bamwegattako okujaguliza awamu.
Obubaga bw’ Amazaalibwa ga Muhoozi aga 48, bwaliwo April 24 era bwatukiza enteekateeka z’okulaga bw’ayagala okusikira kitaawe ku bwapulezidenti era bwali mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo wabula akabaga akakulu kaali mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe era kategekebwa Pulezidenti Museveni nga ne Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame yakaliko ng’omugenyi omuyite.
Oluvannyuma lwa bino, Munnamateeka Gawaya Tegulle yaddukira mu kkooti etaputa Ssemateeka nga ayagala eyimirize Muhoozi okukola obubaga buno nga akyali mu ggye lya UPDF. Tegulle mu mpaaba ye yalaga nti ebikolwa bya Muhoozi ne nneeyisa ye bikontana n’ etteeka lya UPDF eryakolebwa mu 2005.
Tegulle mu balala beyawaabidde ne Muhoozi kuliko Ssaabawolereza olw’okulemwa okuwabula munnamagye ali ku ddaala lya genero mu nsonga z’amateeka awamu n’Omudduumizi w’amagye ow’oku ntikko olw’okulemwa okulambika omujaasi we.
Bya URN