Bya Jospeh Lukyamuzi
Olusirika lwa bakulembeze b’Obwakabaka oluberayo buli mwaka olwatuula okuva nga 26 okutuka nga 29 mu mwezi gwa Musenene. Ensonga enkulu eyakwata abantu omubabiro okuva mu lusirika luno byali bigambo bya Katikkiro, bweyategeza nti Buganda erina okwetegekera enkola ya FEDERO bweribera ekomyewo.
Obubaka buno bwali bukulu nnyo ddala wadde nga ate teyatwalibwa nga nsonga eyetagisa okukubaganyizibwako ebirowoozo mu ngeri ennambulukufu. Wadde kyandibadde nti Uganda yeyandibadde yetegekera enkola ya Federo, amazima kiri nti Buganda yekyasinze okukulemberamu kawefube w’okusaba enkola y’obukulembeze eno era eddoboozi lyaffe lyerikyaasinze okusonookamu ku nsonga eno.
Nze nga ssekinnoomu, ndowooza nti ensonga eno nkulu nyo ddala era olusi ntera okusagira mu bannange bwembategeza nti oli nga ayagala okukuba Buganda ekigwo olwaleero otuwa Federo. Obwagazi oba obwetavu ate n’obusoboozi bintu bya njawulo.
Kigambibwa nti omuntu bwabeera nga abadde ku kalebweerebwe k’okufa enjala, omuntu oyo teyetaga kuwa mere yabulijjo era bw’otava eri n’omukwatirwa ekisa n’omupiika omugati n’amata.
Omuntu nga oyo abeera yeetaaga kuliisibwa nga mwana muwere mu ngeri eyekikugu enyo.
Kuno sikugamba nti Buganda eri mu mbera ya muntu nga oyo.
Wabula mu Uganda muno abantu mwebamanyidde kati okulembeza embuto zabwe, eggwanga n’abantu bebawereza nebigoberera oba olusi nebitafiibwaako wadde, obera olina okwegendereza enkyukakyuka yonna mu ntekateka egobererwa mu bukulembeze.
Okusinzira ku alipoota emu eyakulemberwamu Prof. Yasin Olum ku lw’ekitongole kya Friedrich Ebert Stiftung ekya Bugirimani, yategeeza nga wano mu Buganda abantu bangi bwebatasobola kwawula nfuga eya Federo awamu n’obukulembeze bwaffe obw’ennono era nategeza nti Federo eyabantu nga bano ebeera erina kubera nga eri mu kiti kyayo era nga ezimbiddwa ku misingi gyawano so si ku misingi emirara nga bwegimanyiddwa.
Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyamuli Ssemwogerere bweyakulemberamu tiimu eyateesa ne Gavumenti nebavayo ne nkola eyali eyitiddwa Regional Tier, mw’ebyo ebyali bikanyiziddwako mwemwali ekya Katikkiro omulonde.
Bwenzijukira ebyaliwo n’ebyayogerwa nengerageranya nendaba yange ey’ebintu kati nga esinzira ku byenneyongedde okumanya awamu n’okukula mu ndowooza, nyongera okutwala ebigambo bya Katikkiro nti Buganda esanidde yetegekere enfuga eya Federo bweriba eze.
Abakulembera Obwakabaka, gusanidde gubere mulimu gwabwe okukulemberamu kawefube w’okuteekateka abantu baffe obutadibaga mukisa ogwo olunaku lwegulikomawo, kuba amazima gujja kudda.
Mulimu gwa Katikkiro ne ba Minisita be awamu n’abawabuzi b’ObwaKabaka ku mitendera egy’enjawulo okulambika ngeri ki Katikkiro gy’asobola okulondebwamu kyokka newatabawo mwaganya bangi gwebatya nti Katikkiro oyo ayinza okujeemera oba obutabera muwulize eri Ssaabasajja Kabaka.
Omu ku ba nnakinku be birowoozo Francois Marie Arouet bangi gwetumanyi nga Voltaire olumu yategeeza nti tewaliyo kizibu ku nsi kuno kisobola kuwangula obulumbaganyi obw’omuddiringanwa obw’ebirowoozo by’omuntu.
Ekizibu bwekibera mu ddiiro n’olowooza engeri y’okukivvunuka leero neruli, otuka n’ofuna eddagala lyakyo.
Kinabera kya buswavu singa omulembe ogwaffe gusuulayo ogwa naggamba negulowooza nti ensonga nga zino zirigonjoolwa mulembe mulala.
Abantu abamu olusi bebuuza lwaki abalala bagoberera eby’obufuzi n’obukulembeze engeri gyebitambuzibwamu mu mawanga amalala.
Emirundi mingi tulabye engeri obukulembeze gyebukyukamu mu nsi ya Bungereza eyatufuga nga ettwale era evunanyizibwa ku mivuyo emingi gyeyatutekamu oluvanyuma lw’okutusanga nga tuli bantu ab’enjawulo abaali betongodde ate n’etuteeka mu mugotteko oguvako obutabanguko jjo neluli wano mu mawanga ga Africa.
Emabega ko Ssabaminisita wa Bungereza Boris Johnson nga agenda ewa Nabakyala okumusaba olusa ayiwe Palamenti eyali omulumya omutwe nga obubinja buyitiridde obungi nga tewali kiyinza kukkanyizibwako nadala mu kawefube owokujja Bungereza mu mukago gwa Bulaaya.
Nabakyala teyali mubi olukusa nalumuwa era Boris Johnson nakikola.
Kyali kikolwa kya kilalu wabula ebiseera ebyo ekirowoozo kyange kyenagabana ku kusalawo kwa Nabakyala kyali nti Omulalu bwagenda ewa Nabakyala namusaba nti nsaba lukusa kweyimba mu muguwa, Nabakyala tatawana nawe alukuwa era tekyatwala kisera kkooti za ssemateeka okusazamu enkola ya Boris Johnson.
Nze ndaba nga tulina bingi byetuyinza okuyigira ku Bwakabaka bwa Bungereza. Buwebwa nga ekyokulabirako ky’Obwakabaka obutambulira wansi wamateka naye bwewetegereza Nabakyala oba omukulembeze wa Bungereza ow’ennono asigaza obuyinza bungi wadde yefuga nyo obutabukozesa naleka abakopi okwemala eggayangano.
Mu mateka Nabakyala waddembe okuyiwa Palamenti, aweebwa olukusa okwebuzibwako Ssabaminisita nga bwenalaze edda nti n’okwebuzibwako olusi kubera kwetololera ku bya kilalu naye era asigala mukakkamu, alina obuyinza okussa amanyi mu kawefube w’ensonga ezimu (kitegeza nti asobola okulaga oludda), sso nga alina n’olukusa era okulabula ku nsonga ezimu ebiyinza okuzivamu.
Mu ngeri y’emu Ssabaminista tasobola kutwala Bungereza mu lutalo lwona nga Nnabakyala takikoneddemu era Taata we kwekumu ku kusalawo okuzibu kweyalina okukola nga bwetwalaba mu Firimu emanyiddwa nga “The King’s Speech.”
Nkyimanyi oli aja kugamba nti Nnabakyala akulembera nsi yetongodde so nga Obuganda ebyo byona ate era bisinzira ne kwoyo ali mu ntebe y’obwapulezidenti, kituufu, naye bweguba gwaka tekikugana kwetegekera lw’eritonnya.
Ssabasajja Kabaka Awangaale.
Omuwandiisi muweereza ku leediyo ya CBS ate mwogezi wa Ssettendekero wa Muteesa I Royal University