Musasi Waff
Omukelembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agambye bukyanga abaawo talina kintu kyamuntu oba kya gavumenti kyeyali abbye. Ng’ayogerera ku kisaawe e Kololo nga Uganda y’efumiitiriza kubuli bwe’nguzi, Museveni agambye nti asobola okukasukka ejjinja erisooka kubanga talina gweyali abbye ng’ate simwavu. Yagambye omuntu alya ssente ezitali zize abanga enjoka enyunyuta omuntu. Museveni yasabye ebitongole ebirwanyisa enguzi nga ekya IGG, n’akakiiko ka Col Edith Nakalema akali mu office ye, baleme kuwa bantu mirimu lw’abuyigirize kyokka wabula olw’obwesimbu. “Nkimanyi nti n’ebimu kubitongole bino mulimu enguzi wabula olw’okubulawo obujuluzi kinnemesa okubaako nekyenkola naye singa nabasiba dda,” Museveni bweyagambye. Nga tebannagenda Kololo, Museveni yakuliddemu okutambula okuva ku kibangayiriza kya Ssemateeka mu Kampala okutuuka e Kololo. Yeegatiddwako ebitongole bya gavumenti, ebitongole by’obwannakyewa ebikola kukulwanyisa enguzi saako ne Bannayuganda abalala.
Besigye agaaniddwa
Ebyo nga bikyalyawo, eyali ssenkaggale w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change Dr Kizza Besigye yagaaniddwa okujja mu Kampala okutambula olw’okulaga obutali bumativu ku buli bw’enguzi muggwanga. Besigye poliisi yamusanze Mpererwe kunjegooyego za Kampala ng’ali mummotokaye, n’emukulubbya n’emuzzaayo.