Bya Musasi Waffe
Kampala
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, asindise Yusuf Nyanzi eyali avunaanibwa olw’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi ku alimanda e Kitalya, olw’okugezaako okutta Gen. Katumba Wamala.
Kinajjukirwa nti, abatemu abaali batambulira ku Ppikipiki 2 baakuba emmotoka ya Gen. Katumba amasasi agattirawo muwala we ne ddereeva we ate n’abuukawo n’ebisago.
Leero ku Mmande, Nyanzi ow’emyaka 46 ne Hussein Ismael Sserubula ow’emyaka 38 nga muvuzi wa Boodabooda era omutuuze w’e Nakuwadde mu Wakiso, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’e Nakawa, Douglas Singiza ne bavunaanibwa emisango gy’obutemu ebiri wamu n’ogwokugezaako okutta omuntu.
“Yusuf Nyanzi, Hussein Ismael Sserubala n’abalala abatannakwatibwa, nga June,1, 2021 e Kisaasi central zone mu Kampala mwatemula Brenda Nantongo ne Sgt. Haruna Kayondo, ekikontana n’obuwayiro 188 ne 189 obwa Penal Code.” Omulamuzi Singiza bw’abasomedde.
Ababiri bano baleeteddwa mu bwerinde obwamaanyi era bavunaaniddwa okugezaako okutta Gen. Katumba Wamala ekikontana n’akawaayiro 204 aka Penal Code. Omulamuzi Douglas Singiza tabaganyizza kubaako kye boogera olw’ensonga nti omusango gwe bazza gwa Nnaggomola oguwulirwa kkooti enkulu. Bano abasindise ku alimanda e Kitalya okutuuka nga August 3, 2021.
Ebikwata ku Nyanzi
Mu 2017 Nyanzi yasimbibwa mu kkooti n’avunaanibwa okutta Afande AIGP Andrew Felix Kaweesi, Omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Mambewa.
Ono abadde yayimbulwa ku kakalu ka kkooti okutuusa lwe yazzeemu okukwatibwa aba Chieftaincy of Military Intelligence (CMI okuva mu maka ge e Kyanja nga bagamba nti alina ky’amanyi ku by’okugezaako okutemula Gen. Edward Katumba Wamala.