Bya Ssemakula John
Kamwokya – Kyaddondo
Ekibiina ekivuganya gavumenti ki National Unity Platform (NUP) kisazeewo okwegatta ne FDC basobole okuwangula ekibiina ki NRM mu kalulu k’ omubaka wa Soroti City East ak’okuddibwamu nga bawagira Attan Moses Okia so nga waliwo abantu abalala bekisazeewo okusimba mu bifo ebirala kkooti gyelagira okulonda kuddibwemu.
Bino byonna byanjuddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina, David Lewis Rubongoya bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ ekibiina e Kamwokya nategeeza nti basuubira obululu buno bwonna okubeeramu vvulugu nga bwekibadde kibeera.
Rubongoya anyonyodde nti ekibaganye okusimbawo omuntu mu Soroti City East, kwekubanga nti munna kibiina kya FDC bamulinamu obwesige okutwala mu maaso endowooza z’oludda oluvuganya era nga n’obuwagizi mu bantu abulina.
Mu disitulikiti ye Pallisa mu kitundu kye Gogonya, baleeta Okoboi Joseph Opoloti ku kkaadi y’ekibiina ate Busongola South e Kasese balina Mbajo Jackson.
Okusinziira ku Rubongoya tebasuubira kalulu kano kwawuka kwebyo ebyali e Kayunga ne Omoro abawagizi babwe gyebagenze bakwatibwa nebaggalirwa mu kkomera.
Akulira ekibiina ki NUP mu buvanjuba, John Baptist Nambeshe awadde amagezi oludda oluvuganya nti bakolere wamu okuwangula ebifo ebyo eby’okuddamu omulonda kwa bonna era basobole okulwanyisa vvulugu akolebwa ekibiina ki NRM.
Mbajo Jackon akwasiddwa bendera ya NUP mu Busongola south e Kasese agambye nti ku mulundi oguwedde yanyagululwa naye kkooti yalabye amazima era asuubira okuziba emiwaatwa mwebayita okumubba akalulu.
Mu ngeri yeemu NUP erangiridde Langote Alionzi Lawrence okubakwatira bendera okwesimbawo ku kifo kya Pulezidenti w’abayizi ku Makerere University, oluvanyuma lwábaali basoose okwesowolayo ku kifo ekyo okugobwa ku ssetendekero ono wiiki ewedde.