Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC), Patrick Oboi Amuriat agamba nti ekibiina ki National Unity Platform (NUP) tebakoze kimala kulambika bannansi wabweru wa Palamenti nga bwekiteekeddwa okubeera.
Amuriat bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ategeezezza nti ng’ekibiina ekisinza ababaka abangi bateekeddwa okulabikira ne wabweru wa Palamenti naye kino tekirina wekirabikira.
“Okusomoozebwa okutunuulidde NUP kwekulambika eggwanga mu Palamenti nebweru waayo. Naye nze sirina wendaba NUP wabweru wa Palamenti,” Amuriat bw’ategeezezza.
Ono annyonnyodde nti kyeraga lwattu nti FDC ky’ ekibiina ky’oludda oluvuganya ekisinga obunene kuba balina obuwagizi mu bitundu by’eggwanga eby’omu maaso wadde NUP yawangula mu Palamenti ng’ereese ababaka abangi.
Amuriat agasseeko nti FDC tetunuulira kyakulira ludda oluvuganya mu Palamenti naye buli lwebagenze mu kalulu babadde baagala kutwala ntebe nnene bakulembere eggwanga.
Ono asabye bannabyabufuzi bonna okwegatta bafune obuwagizi obumala okusobola okuwangula ekibiina ki National Resistance Movement (NRM).
Ku nsonga za ‘Muhoozi Project’ Amuriat agamba nti kuno kugezaako kubuzaabuza bannayuganda nakakasa nti FDC tejja kubigenderako kuba bakimanyi bulungi nti Pulezidenti Museveni akomawo mu 2026 okwesimbawo.
Oboi bannayuganda abawadde amagezi amaaso okugatunuuliza Pulezidenti Museveni era bakole kyonna okumuggya mu buyinza kuba ebya Muhoozi byakuwudiisa.