Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabakunzi w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Rosemary Nansubuga Sseninde ayambalidde abavuganya gavumenti baagamba nti batandise okumetta ekibiina kye ne gavumenti enziro nga baagala okugiremya akalulu k’omubaka wa Omoro mu Palamenti.
Sseninde agamba nti aba Opozisoni bagenda batambuza ebigambo nga gavumenti bweyatutte ssente ezabadde zirina okuweebwa abantu abafiirwa ebyabwe mu lutalo olwali mu mambuka nesalawo okuzikozesa okunoonyeza mutabani wa Jacob Oulanyah, Andrew Ojok Oulanyah akalulu, kyagamba nti ssi kituufu.
Okusinziira ku Sseninde bino bikyamu kuba gavumenti yamaze dda okufulumya ssente ezigenda okuliyirira abantu era ekikyazisibye ke kasengejja abalina okuzifunako mwebalina okuyita nga kino kikolebwa woofiisi ya Ssaabawolereza wa gavumenti.
“ Mpulidde ebigambo nti ssente Ojok z’akozesa zeezo ezibadde zirina okuweebwa abantu abafiirwa ebyabwe mu lutalo, naye kino kikyamu era ababitambuza beenoonyeza byabwe,” Sseninde bwe yategeezezza abamawulire ku Lwokubiri.
Sseninde yasinzidde wano n’asaba bannakibiina mu kitundu kino okugezaako ennyo okusaabulula obulimba obutambuzibwa ab’oludda oluvuganya baagamba nti batandise kukonjera olw’okuba tebalina kyebagamba bantu bakitundu kino.
Akulira eby’amawulire mu kibiina ki NRM, Emmanuel Dombo, agamba nti aba Opozisoni kano babadde bakakozesa nga kakodyo olw’okuba tebalina kyebasobola kusuubiza bantu beeno nga kati batandise kucankalanya nabulimba.
Ono aweze nti bano kebakole ki tebagenda kusobola kuwangula kibiina kya NRM mu kalulu kano kuba kyeteeseteese ekimala.