Bya Mathias Mpuuga
Ku lw’Omukaaga nga alina okuwummulako, Katikkiro n’alekawo amakaage, naayolekera Kyaggwe okukola omukola omukulu mu buwangwa bwaffe!!
Olwo mmwe abaamuyita e Kyaggwe ne mutyoboola Kamalabyonna!! Mumanyi obuyambi bwe muwa abalabe ba Buganda nga mukola akajanja, akatinko, okwessa mu butaala n’okwetona amaganzi !!
Atamanyi yeebuuze, weewe akadde ove mu kibuguumirize!! Mmanyi amaka ga Ssekiboobo be bayita Katikkiro okuwa mukadde waabwe omugenzi ekitiibwa! Tulinze ekiwandiiko kyabwe ku bibadde e Kyaggwe!!
Abantu ba Buganda naddala ba musaayi muto, muve mu bubuze; Buganda ssi mboozi ya Facebook; mujja kwanamya eby’ensonga! Buganda erina emitendera mweyasibaga ennono yaayo.
Nnyini kiggwa!! Muli mu kwolesa obutamanya mu maaso g’omulabe wammwe!
Ggwe Ow’ebuddu osaatuuka ogende e Mengo, Pokino y’akutumye! Munnaffe Ow’ebuluri, Kimbugwe y’akutumye e mbuga!! Otinatina okuva e Mawogola, oyise mu Buddu, wuuyo mu Mawokota, Busiro , ogguse ku Kibuga, olugendo lwo Muteesa y’alugabye!!!
Obwa Kabaka bwa Nnono, era eby’obufuzi mu Buganda ennono yabisibaga! Bannaffe abawanise akalindi, bye mukola ekikolo kyabyo Kiri ludda wa!
Ffe abaafuna omukisa okukola obuweereza obwenkizo eri Nnamulondo, tulabyeko Buganda edduka, etambula, eyavula ate ne Buganda ebeteggera!!
Obwagazi eri Nnamulondo tusobola okubwolesa wakati mu kutegeera eby’enkizo eri Kabaka!! Okwagala okutaliimu kwefumiitiriza kuyinza okwonoona kwoyoleka nga oyagala!!
Okwagala nga kulimu okufumiitiriza kutaasa okukola n’okwogera ebyensimattu, n’okumalamu amaanyi abaweereza abeesimbu nga tubatyoboola tuyiseewo eby’ekiseera!
Embuulire!!
Omuwandiisi ye mubaka w’ekibuga Masaka mu Palamenti era yaliko Minisita mu Bwakabaka