
Bya Shafic Miiro
Katwe – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba alabudde abantu abalemedde ku kukulumba Buganda mu ngeri ez’enjawulo naabasaba obutakyokooza mirembe gya Buganda.
Okulabula kuno Nnamwama Mutumba akukoledde Katwe mu ggombolola ya Makindye Mutuba III bw’abadde alayiza obukulembeze bw’Ekika ky’Engabi Enyunga obuggya ku Ssande.
“Waliwo abaagala okutufufunyaza mu buwangwa bwaffe n’Ennono nga bavvoola Obwakabaka, tuli bantu ba mirembe mu Buganda naye tetwagala kukyokozebwa, twagala tutambulire wamu buli muntu awulire emirembe mu buwangwa bwe” Nnamwama Mutumba.
Ono ayogedde neku bantu abalabiddwako nga balumba Embuga y’Essaza Bugerere nga baagala okugiwamba, naabasaba okukimanya nti ebintu ssi bya kuwamba buwambi wabula kukola na kubiteekateeka.
Omutaka Mutumba ayongeddeko nti toyinza kuva eri mbu ogenda kuwamba ssaza gy’obeera nti abantu abali mu ssaza eryo tebamanyi bibakwatako na babakulembera.
Ono era yebazizza abavuddeyo okukomya ejjoogo ly’abannanfuusi bano naabakuutira okukola buli kimu okukuuma n’okutaasa ekitiibwa kya Nnamulondo.
Bino webijjidde nga waliwo abantu abalabiddwako ku mutimbagano nga balumba Obwakabaka mu ngeri ez’enjawlo omuli; okwogerera abakulembeze mu Bwakabaka ebigambo ebitali bituufu, okuvvoola ekitiibwa kya Nnamulondo, okuvumirira obuwangwa n’ebirala.

Abantu ekikula kino, abajjukiza nti Buganda yasangibwawo dda, era ebiwandiiko byajja luvannyuma naabakubiriza okufaayo ennyo ku mirembe gy’ensi eno, baleme kukyokooza Baganda kutuuka kwagala kubaggya mizze.
Nnamwama era akubirizza abantu okufaayo okumanya Obuwangwa bwabwe baleme kulowooza nti bwe babeerako ebifo oba obukulu bwonna bwe bafunye, nti kibaggyako okubeera n’obuvo.
Ono era akuutidde Ebika okufuna obukulembeze obutegeerekeka obulungi nga basembeza n’abantu abalina obukugu obw’enjawulo ng’abasawo, bannamateeka, bannaddiini n’abalala kubanga bano nabo bazukkulu mu Bika eby’enjawulo era abasaana okubiweereza.