
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Omukubiriza w’olukiiko lw’ Abataka era omutaka w’ekika ky’ Ekkobe, Nnamwana Augustine Kizito Mutumba asabye abazukkulu okulwanyisa obuseegu obweyongera buli lukya kiyambe okutaasa ebiseera bya Buganda eby’omu maaso.
Okusaba kuno Nnamwama akukoledde mu ssaza Kyaggwe ku kyalo Nakabago bw’abadde n’olukiiko lw’ekika nga alambula abamu ku bazzukulu okusobola okunyweza obumu n’okumanyagana.
“Tweyame okukuuma obuwangwa bwaffe, tuwone ebizibu ebinaddirira mu mbeera y’ebisiyaga kubanga kubanga bannaffe tunazaala abaana ate nga waliwo abalowooza nti balina kubazaalira bakuze,” Omutaka Nnamwama bw’annyonnyodde.
Nnamwama Mutumba akuutidde abazzukulu okunyweza ennono n’obuwangwa bwabwe wadde nga waliwo abakola ennyo okubibasuuza era n’abakulembeze ensonga zino bazoogereko kuba balina eddoboozi eriwulirwa.
Jjajja Namwana era yenyamidde olw’ebikolwa by’okutulugunya abantu ebiri mu ggwanga omuli n’okwookya abantu nasaba ababikola okwekuba mu kifuba.
Katikkiro w’ekika ky’Ekkobe Lawrence Nsereko asabye abazzukulu okufuba okuweerera abaana wadde waliwo obuzibu bw’ ebisale era batuule n’abaana babwe basobole okubalambika obulungi.
Abazzukulu beebazizza Omutaka olw’okubalambula n’okubakumaakuma era n’okulwana okuteeka ebyafaayo ku mutimbagano okusobola okubamanyisa.
Bano era beekung’aanyizaamu obusawo bwa seminti obuwera 150 okuyambako ku mulimu gw’okuzimba obutaka bw’ekika kino.









