Bya Betty Namawanda
Masaka
Entiisa ebuutikidde abantu b’oku kyalo Kikungwe mu ggombolola ya Kimaanya – Kabonera mu Buddu, musajjamukulu ow’emyaka 87 bw’asangiddwa ng’atemuddwa ng’omulambo gwe gugalamye mu kitaba ky’omusaayi.
Omugenzi ye Diriisa Mukasa ow’emyaka 87 era ng’abadde mutuuze ku kyalo kye kimu wabula abatuuze bagamba nti ekikolwa kino kibakubye wala kuba omugenzi abadde talina ttabbu ku muntu yenna era tabadde na ssente kulowoozesa nti oba abamusse ze baabadde bajjiridde .
Ssentebe w’ekyalo Kikungwe, Abdul Lubega, agamba nti Omugenzi abadde ssezaala we era ng’emabegako batta mukyala w’omugenzi ssaako omwana waabwe bwe baabayiira Asidi.
Lubega ategeezezza nti awangaalira mu kutya ne mukyala we kuba naye mwana wa mugenzi era ng’alowooza nti essaawa yonna ayinza okulumbibwa, bw’atyo n’asaba poliisi enoonyereze mu bwangu abali emabega w’ettemu lino.
Ye muwala w’omugenzi Sarah Namukasa agambye nti jjo yayogedde ne kitaawe nga nebaawukana bulungi kyokka tamanyi kimusse kuba abadde talina mpalana ku kyalo na bantu.
Kkansala w’ekitundu kino, Maria Nalikka alaze okutya kwe bafunye olw’obutemu obususse n’asaba poliisi okunoonyereza okuzuula abakola ebikolwa bino era bakwatibwe.
Poliisi okuva e Masaka ereese embwa ekonga lusu era egukkidde ku nju ya muganda w’omugenzi ategeerekeseeko erya Abdul n’ekoma awo era ng’ono abatuuze bamulumiriza okutta muganda we olw’ettaka lye babadde bakaayanira.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka, Muhammad Nsubuga akakasizza ettemu lino era n’ategeeza nti poliisi yatandise dda okunoonyereza era mu bwangu abantu abakoze ettemu lino bagenda kukwatibwa bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka.