
Bya Ssemakula john
Kangulumira – Bugerere
Nnalulungi wa Uganda ne Buganda ow’ebyobulambuzi, Nabulya Sydney Kavuma akubiriza abantu okwettanira okugaba omusaayi bayambeko abagwetaaga okutaasa obulamu kuba guno tegulina kkolero.
Bino abyogeredde Bugerere ku Lwokutaano mu nteekateeka y’okugaba omusaayi mu ssaza lino nga eggaddwawo Mugerere, Owek. Ssempigga eyeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima enteekateeka eno.
Nnalulungi Nabulya yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno era nasaba abavubuka wonna mu Buganda okugijjumbira kuba tebamanya ddi lwebayinza kwetaaga musaayi guno.
Kavuma era akunze abantu okufaayo okukuuma obutonde era bwatyo ne Nnalulungi w’e Bugerere Namakula Allen Genevieve basimbye emiti egy’ekijjukizo ku mbuga ya Ggombolola Musaale Kangulumira nebasaba abantu okutwala ensonga y’okukuuma obutonde bwensi nga nkulu.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno ey’okugaba omusaayi, ewomeddwamu ekitongole ki Kabaka Foundation , Uganda Red Cross Society wamu ne Uganda Blood Bank okusobola okumalawo ebbula ly’omusaayi mu malwaliro.

Ye akulira ekitongole Kya Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala yeebazizzza abantu ba Kabaka olw’okuwaayo omusaayi mu bungi era nabasaba bulijjo obutakoowa bweba basabiddwa nate okuddamu okugugaba.
Omuk. Ndagala asabye aba Uganda Blood Bank ne Minisitule y’ ebyobulamu okwongera amanyi mukusomesa abantu ebirungi ebikwata kukugaba omusaayi kuba bangi tebamanyi.

Ate akulembera essaza lya Beene lino, Mugerere Ssempiga James agambye nti bamativu Omusaayi oguvudde mubantu ba Kabaka mu Ssaza lino gwakuyamba kinene nnyo eri abantu abagwetaaga .
Kinajjukirwa nti Omutanda yasiima nasaawa ekirabo ky’okuzimbira essaza eribeera lisinze okuvaamu omusaayi omungi eddwaliro era kati enteekateeka eno eyolekedde ssaza lye Mawogola.









