
Bya Francis Ndugwa
Kibibi – Butambla
Nnaalinnya Lubuga, Agnes Nabaloga asabye abantu ba Buganda okuddamu okulima ppamba nga bayita mu bibiina by’Obwakabaka eby’obweggasi basobole okulaakulana.
Obubaka buno Nnaalinnya Nabaloga abuwadde Bannabutambula ku Lwokuna bw’abadde alambula abalimi n’okubazzaamu amaanyi ku bulimi bw’ekirime kya Ppamba.
“Nzikiririza nnyo mu kukwatira awamu nga tukola ebintu, tewali asobola kukola kintu bw’omu okuggyako ng’olina obuwagizi okuva awalala naye bwetukwatira awamu nebyetulowooza nti tebisobola kugenda mu maaso, bijja kugenda mu maaso. Nange ngenda kuwaayo akatono kensobola mukulima ppamba ono,” Nnaalinnya Nabaloga bw’ategeezezza abalimi.

Ono ategeezezza nti Obwakabaka bwetegefu okukwasizaako abalimi ba Ppamba basobole okwekulaakulanya beegobeko obwavu.
Ye Omwami wa Kabaka atwala Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala asabye Bannabutambula okweyuna okulima ppamba bakyuuse embeera yabwe era essaza lyakugenda mu maaso n’okubangula abantu ku birungi ebiri mu kirime kino.
Ssenkulu wa CBS PEWOSA, Florence Luwedde agamba nti singa Bannabutambala bawaayo obudde nebalima Ppamba omwaka 2030 wegunaatuukira bajja kuba balina kyebalagawo.
Akulira olukiiko olukulaakulanya abantu ba Kabaka era akulembeddemu enteekateeka eno, Owek. Kaddu Kiberu asabye abantu ba Kabaka okukulemberamu enteekateeka y’okulima ppamba basobole okugyagazisa abalala.
Bbo abantu ba Nnyinimu ababanguddwa ku kirime kino beeyamye okukola buli kisoboka okulima ekirime kino kuba bwebugagga obwensibo obwazimba Buganda.
