
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Nnaabagereka Syliva Nagginda asisinkanye mukyala wa pulezidenti w’ekibiina ekitwala emizannyo gya Olympics mu nsi yonna Thomas Bach, omuky. Claudia Bach ali ku bugenyi mu Uganda nebateesa ku nsonga ez’enjawulo.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange Mmengo ku Lwokusatu era bano basoose mu kafubo akeetabiddwamu Minisita Choltilda Nakate Kikomeko w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, n’abagenyi abalala abawerekedde ku mukyala Bach.
“Nsisinkanye n’Omukyala Claudia Bach ne twogera ku bintu eby’enjawulo omubadde emirimu gyetukola mu Nnaabagereka Development Foundation, muky. Bach naye akola nnyo ku by’abaana n’abakyala naddala abalina obukosefu ku bwongo ate nga naffe kye kimu ku byetuliko ensangi zino” Nnaabagereka Nagginda bw’annyonnyodde.

Nnaabagereka agamba nti ekimu ku bitunuuliddwa kwekulaba bwebayinza okukwatagana ku kizibu ky’abalina obukosefu ku mutwe bongere okubayambako.
Maama Nagginda era ategeezeza nti omugenyi era azze okumanya ebyafaayo bya Buganda eby’enjawulo n’emirimu egikolebwa mu Bwakabaka era bingi by’amubuulidde ku byenjigiriza, ebyobulamu n’ebirala.
Omugenyi alambuziddwa n’ekizimbe Bulange n’okumanyisibwa ebyafaayo eby’enjawulo ebikyetoolorerako.
Mukyala Claudia Bach ali kuno ne bba, Thomas Bach ku bugenyi obutongole obugenda okumalira ddala ennaku ssatu nnamba.









