Bya Francis Ndugwa
Lubiri – Mmengo
Maama Nnaabagereka Sylvia asabye abakyala abeetabye mu Ttabamiruka w’omwaka 2022 okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana kibayambe okufuuka ab’omugaso nga bakuze.
Okusaba kuno akukoze ku Lwakutaano nga aggulawo Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ow’omwaka 2022 ayindidde mu Bulange e Mmengo wansi w’omulamwa,“ Omukyala omulamu obulungi gwe musingi gwobuyiiya nenkulaakulana eya nnamaddala,” nga aggaddwawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Nnaabagereka Nagginda ategeezezza nti ensi bweba yakulaakulana omukyala alina okubeera omulamu era kuno kwekulambika kw’ekibiina ky’amawanga amagatte okusaba bannansi okufuna eby’obulamu ebirungi ku nsimbi entono nasaba okufaayo ku bulamu bwabwe nga beekebeza endwadde, okufaayo ku bye balya n’okwettanira dduyiro.
“Mukuze abaana mu mpisa ennungi era y’ensonga lwaki twatandika ekisaakaate kya Nnaabagereka kati emyaka 17 egiyise. Mu 2013 essira twaliteeka ku buntubulamu naddala ennyingo ezibufuga omuli amazima, ensonyi obugunjufu, obukulembeze, obwetowaze obwesimbu awamu n’obuyonjo,” Nnaabagereka Nagginda bw’agambye.
Ono asabye abakyala obutakoowa kulung’amya baana abawala, omuli abafuna embuto n’abalala abalina okusomoozebwa okutali kumu.
Omutanda mu bubaka bwe yeebazizza abantu ab’enjawulo bakoze ennyo okutumbula embeera z’omukyala n’okwekulaakulanya mu Buganda ne Uganda era nakkiriza okusaba kw’ abakyala bano ebikujjuko bino bikwatirwenga mu Lubiri lwe luno.
Ttabamiruka ono yatandise nakubangula bakyala okumanya amaanyi gabwe, okwezuula saako nebikwata ku bulamu bwabwe nga abakyala awamu n’okukolera awamu okusobola okweggasa.
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza abakyala ne bannamikago abaliko kyabakoze okutumbula embeera z’abakyala mu Buganda nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo Obwakabaka zebutandiseeewo nezitumbulwa ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation.
Omukolo guno gwetabiddwako Ssaabamisinita Robinah Nabbanja, abakungu b’ekitongole ky’ensi yonna eky’ abakyala, ababaka ba palamenti abakyala, Abataka Ab’Obusolya, Baminisita ba Kabaka, Abaami b’Amasaza n’abakungu abalala.
Abakyala ababadde mu ttabamiruka Ono nga ojjeeko ababaka ba palamenti, abazze nga ssekinoomu, abalala bavudde mu bibiina ebitaba abakyala abafumbo, omuli womens guild ne Mothers Union. Basabiddwa okwewala engambo.