
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakyala bulijjo okweyambisa enkola ya tekinologiya mu buli kyebakola okusobola okukuza emirimu gyabwe.
Nnaabagereka okwogera bino asinzidde mu Lubiri lwa Kabaka olw’e Mmengo bw:abadde mu ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ow’omulundi ogw’omwenda atambulidde wansi w’omulamwa “Twongere okuwagira emirimu gy’Abakyala ku lw’enkulaakulana eya nnamaddala”
Nnaabagereka akinoganyiza nti singa abakyala bettanira enkozesa ya tekinologiya, bajja kusobola okufuna mu bye bakola byonna. Kyokka agamba abakyala bangi bakyekuumidde mu kutambuza emirimu mu nkola ey’edda ekireeseewo okutambula akasoobo mu mirimu gyabwe. Bwatyo abasabye kino okukikomya olwo basobole okutuuka ku nkulaakulana eya namaddala eruubirirwa.

Nnaabagereka era akubirizza abakyala abaliko emirimu gye bakola, ate obutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe mu maka, akikaatiriza nti olw’okuba amaka ly’eggunjuliro ly’obuntu n’Eggwanga eddamu, galina okuteekebwako essira, era abakyala abalwadde amaanyi okukimanya nti Katonda yaabawa Enkizo okukola emirimu emingi mu kiseera ky’ekimu.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo nga yagaddewo Ttabamiruka, mu bubaka bwe akubirizza abakyala okufuna ekyokuyiga mu misomo egitegekebwa mu nkuŋŋaana nga zino era agambye nti mwetegefu nnyo okubayambako mu ttuluba ery’enzirukanya y’emirimu awamu ne tekinologiya okulaba nti bagenda mu maaso n’okutumbula emirimu gyabwe.
Minisita w’Ekikula ky’Abantu Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti abakyala basaanidde okubeera abasaale mu kutaasa obutondebwensi n’enkyukakyuka y’obudde etaguddwa ensangi zino era n’abakubiriza okwettanira enteekateeka y’Ekibira kya Kabaka.
Ssentebe wa ttabamituka ono Dr. Sarah Nkonge Muwonge afalaasidde abakyala okufuba okuzuula obusobozi bwabwe kibayambeko okukulakulaanya amaka gaabwe. Yeyanziza nnyo Nnaabagereka olw’okuvangaayo okuwagira enteekateeka z’abakyala mu Buganda n’okweyongerayo ky’agambye nti kibawa ekyokulabirako eky’amaanyi.

Ttabamiruka ono yetabiddwamu ba Minisita ba Kabaka; Owek. Chotilda Nakate Kikomeko, Owek. Hajj Amisi Kakomo, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati n’Abobwakabaka ku mitendera gyonna.